Login
Login to access premium content
VISION TVS & RADIO
BUKEDDE AMAWULIRE
KAMPALA SUN
Ebigambo eby'amagezi ne Margaret Nankinga
BANGI balowooza nti tebamanyi kukola ssente ate ng’ekizibu kyabwe kya butamanya kuzikozesa (Frank Clark).
Ebigambo eby'amagezi ne Margaret Nankinga
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists
@NewVision
#Magezi
Open Gallery (1 photo)
Bya Margaret Nankinga
Ebiseera bya muwendo naye amazima ga muwendo okusinga ebiseera (Benjamin Disraeli).
Bw’oba olina amazima g’oyagala okuggyayo, galage mu ngeri ey’omukwano, bwe kitaba ekyo amazima ne kagaleeta bombi bajja kusuulwa bweru (Mahatma Gandhi).
Abasinga omuntu ababuulira amazima gwe batwala okuba omulabe waabwe asingira ddala (Plato).
Omuntu ayonoona essaawa ennamba ey’ebiseera bye oyo aba tannazuula bukulu bwa biseera (Charles Darwin).
Ssinga obadde n’essaawa munaana ez’okutemeramu omuti, mala essaawa mukaaga ku zo ng’owagala mbazzi ey’okugutemesa (Abraham Lincoln).
Abawanguzi tebaggwaamu ssuubi n’abaggwaamu essuubi tebayinza kuwangula (Norman Mailer).
Abasajja abakulu be balangirira entalo kyokka abavubuka be bazirwana era be bazifiiramu (Benjamin Disraeli)
Obugagga bwonna butandikira mu bwongo. Obugagga buli mu birowoozo si mu ssente (Robert Collier).
Enzigi ezikuyingiza eri amagezi zibeera nzigule ekiseera kyonna (Benjamin Franklin).
Amagezi agannamaddala gava mu kumanya nti tolina ky’omanyi (Socrates).
Abantu basinziira ku bikolwa byo okukulamula so si ku bigendererwa byo (Tamanyiddwa).
Bw’oba tolina ssente ekizibu kyo eba mmere, bw’oba n’essente ekizibu kyo kuba kwegadanga. Bw’oba byombi obirina ekizibu kyo byabulamu, bino byonna bw’oba obirina olwo n’otya okufa (J. P. Donleavy).
Bw’owummula otalagga (Helen Hayes).
Toyinza kutegeera mukazi okutuusa ng’akututte mu mbuga z’amateeka (Norman Mailer).
Okuzuula nti osobola okukola ky’obadde olowooza nti tokisobola kye kyewuunyo ekisingira ddala (Henry Ford).
Kumpi buli omu amanyi okukola ssente, naye mu bantu akakadde oyinza okubulwa n’omu amanyi okuzikozesa (Henry David Thoreau).
Related Stories
Emboozi
Genderera woyiro gw’ossa mu mmotoka obutagyonoona
Emboozi
By'olina okukola ng'ozimba amazzi obutakosa nnyumba yo
Emboozi
Kozesa eddagala ly'obutonde mu kufuuyira ogaziye akatale ko
Emboozi
Yiino engeri gy'olabiriramu ebigere by'emmotoka okwewala obubenje
Emboozi
Engeri gye weetegekeramu akatale ng'atondika okulunda enkoko
Emboozi
By’olina okukola ng’ogula mmotoka eriko nnamba puleeti za digito