Amawulire

Ateeberezza mukwano gwe okumwagalira omukazi n'amukuba akakumbi ku mutwe

OMUVUBUKA alumirizza mukwano gwe  okwagala okumusanyaawo bwe yamukuba akakumbi ku mutwe ng'amuteebereze okumwagalira omukazi. Bino bibadde mu kkooti ya Nateete Rubaga e Mengo mu maaso g'omulamuzi Amon Mugezi, omuvubuka Alpha Kafeero 22 abeera e Busega bw'alumirizza Wilber Mbimanya amanyiddwa nga Mukiga okumukuba akakumbi ku mutwe ekyamuleetera okufuna ebisago ebyamanyi.

Ateeberezza mukwano gwe okumwagalira omukazi n'amukuba akakumbi ku mutwe
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision
Bya Peter Suuna 
 
OMUVUBUKA alumirizza mukwano gwe  okwagala okumusanyaawo bwe yamukuba akakumbi ku mutwe ng'amuteebereze okumwagalira omukazi.
 
Bino bibadde mu kkooti ya Nateete Rubaga e Mengo mu maaso g'omulamuzi Amon Mugezi, omuvubuka Alpha Kafeero 22 abeera e Busega bw'alumirizza Wilber Mbimanya amanyiddwa nga Mukiga okumukuba akakumbi ku mutwe ekyamuleetera okufuna ebisago ebyamanyi.
 
Kigambibwa nti nga, December 16, 2022 mu Kigwanya zzooni e Busega, Mukiga nga ono akola gwa kulonda bicupa yali yeewerera dda okutta Kafeero era ku olwo yamugwikiriza mu maka ga nnyina n'amukuba obukumbi busatu wabula akamu ke kakwata ku mutwe abaali ne bakungana.
 
Mu bujulizi obuleeteddwa, kigambibwa nti Mukiga olwamala okukola kino yagenda ku Poliisi n'abategeeza nga bw'asse omulalu wabula n'adduka.
 
Aisha Namubiru nga ye nnyina wa Kafeero, yategeezezza kkooki nti Wilber bulijjo yeewerera omutabani nga bw'agenda okumutta ng'agamba nti mulalu tategeera.
 
Namubiru agamba olw'okuba mutabani we omutwe tegukola bulungi, bambi oluusi ne by'ayogera tebikwatagana era nga oluusi buli mukazi gw'alaba agamba nti mukazi wange oba oli awo Mukiga ky'ava amukuba nti amwagalira omukazi.
 
Maama era ategeezezza nti Mukiga abadde atera okuwa mutabani we ebitamiiza newankubadde babadde baamukwano wabula kino kyamukuba wala era n'asaba kkooti obwenkanya.
 
Omulamuzi Mugezi omusango yagwongeddeyo okutuusa nga February 23, abajulizi abaaliwo ku olwo nabo basobole okulumiriza Wilber
Tags: