Amawulire

Abavandimwe baloopedde Sipiika ababasosola

ABANYARWANDA abazaaliddwa mu Uganda abeeyita “Abavandimwe” baloopedde Sipiika wa Palamenti Anita Among embeera enzibu gye bayitamu omuli okusosolebwa n’okulinnyirira eddembe lyabwe.

Dr Muganga, Gashumba, Ssewungu nga bali ne sipiika Anita Annet Among
By: Joseph Makumbi, Journalists @New Vision

ABANYARWANDA abazaaliddwa mu Uganda abeeyita “Abavandimwe” baloopedde Sipiika wa Palamenti Anita Among embeera enzibu gye bayitamu omuli okusosolebwa n’okulinnyirira eddembe lyabwe.

Nga bakulemberwamu abakulembeze baabwe okuli; ssentebe waabwe Frank Gashumba, omumyuka wa ssentebe Dr. Lawrence Muganga ne Gonzaga Sewungu (Kalungu West) baalopedde Sipiika ng’ekitongole kya NIRA bwe kibakaluubiriza okubawa densite z’eggwanga ne Paasipooti.

Bagamba nti n’abatono ebiwandiiko bwe batuuka ku nsalo ye Katuna ne Kagitumba ebiwandiiko byabwe bibawambibwako. Bino bibeewunyisa kuba Konsitityusoni ya Uganda eboogerako nga Bannayuganda.

“Enkumi n’enkumi za baganda baffe bagaaniddwa okuweebwa densite z’eggwanga ne Paasipooti. Ekyewunyisa n’abalina Paasipooti enkadde bwe bagenda okuzizza obuggya ku minisitule y’ensonga z’omunda babagaana. Buli lwe batumma ebiwandiiko babeera bakosezza ebyenfuna yaffe” Gashumba bwe yategeezezza.

Abalala bwe bagenda okuwandiisa amakampuni bagaanibwa ne babagamba basooke basabe obutuuze ekintu kyagamba nti si kya bwenkanya.

Dr Muganga ne Sipikka Anita Among

Dr Muganga ne Sipikka Anita Among

Gashumba agamba ekyewunyisa bwe kituuka ekiseera ky’okulonda ate bakkiriza okubawandiika ekiraga nti babakozesa kubafunirako bululu kyokka.

Muganga yalaze essanyu olwa Sipiika okukkiriza n’abasisinkana era ng’alina essuubi nti ebizibu byabwe bijja kukolwako kubanga Uganda nsi yaabwe era kibakakatako okugyeyagaliramu obulungi ng’amawanga amalala.

Christine Nakimwero Kaaya (mukazi/Kiboga) yasabye Sipiika alagire minisitule y’omunda eddize abantu bonna abaali basasudde okufuna Paasipooti kyokka ne bagaanibwa kuba kye baasasulira tebaakifuna awamu ne ssente.

Sipiika mu kwanukula yavumiridde ebikolwa by’okusosola mu bantu n’agamba nti buli muntu alina kuyisibwa kyenkanyi ne bwabeera ng’alina akakwate ku Rwanda oba talina.

Yasanyukidde ekyakoleddwa olukiiko lwa Abavandimwe olw’okuvaayo ku nsonga eno. Yasuubizza nga bwagenda okuwandiikira baminisita bonna abakwatibwako ensonga eno kuba ategeera obulumi bw’omuntu atalina densite bwayitamu. Abeera tasobola kuggulawo akawunti mu bbanka wadde okukola bizinensi erimu amakulu.

Omubaka Ssewungu yalagiddwa okukulemberamu okwanja ensonga eno mu Palamenti wiiki ejja kuba yetaaga okwogerwako.

Tags: