Zambia eweze okulaga Uganda ekitone mu z'abato

TTIIMU ya Bamusaayimuto okuva e Zambia olutuuse mu ggwanga ne bawera okulaga ku bannaabwe ekitone baddeyo n'obuwanguzi.

Coach Mugerwa n'abaana ba Academy
By Kigongo Moses
Journalists @New Vision
TTIIMU ya Bamusaayimuto okuva e Zambia olutuuse mu ggwanga ne bawera okulaga ku bannaabwe ekitone baddeyo n'obuwanguzi.
 
Bino babyogeredde ku kisaawe entebbe leero nga bukya,oluvanyuma lw'okuggira mu nnyonyi ya Ethiopian Airlines okwetaba mu mpaka z'abamusaayimuto ezigenda okuyindira ku ssomero lya Chagos resort center.
 
Empaka zino ezigenda okuyindira ennaku bbiri zaategekeddwa academy ya Prostat era nga ttiimu ezenjawulo okuva mu ggwanga n'ebweru waazo zakuzeetabamu . 
 
Ttiimu ya Little Stars okuva e Zambia yeekulembedde ttiimu ezivudde ebweru ,ate eya Prostat n'ekulembera eza Uganda okulaga ebitone mu kucanga omupiira mu mitendera egy'enjawulo okuli; egya bali wansi w'emyakka 9, 12, 15 ne 17. Era ng'omuwanguzi waakusitukira mu kikopo,emiddaali ne satifikeeti.
 
Empaka zino zitegekebwa mu mawanga agenjawulo buli mwaka ng'ezomwaka oguwedde zaabadde Zambia .Era zaagenze okukomekerezebwa nga Uganda ezeetisse olw'okuwangula mu mitendera egyenjawulo.