Nanyondo nga ky'ajje ave mu mizannyo gya Olympics egyali mu Tokyo ekya Japan gye yavuganyiza mu mbiro za mmita 800 ne 1500 nga mu zonna teyawangula mudaali agamba sizoni ya 2022 egenda kuba nkakali nga na bwekityo yeetaaga okukola ennyo okulaba nga awangulayo omudaali.
Nanyondo eyawangula omudaali ogw’ekikomo mu mizannyo gya Commonwealth mu 2014 egyali mu Glasgow ekya Scotland ategeezezza nga ekigendererwa kye omwaka ogujja bwe kiri eky’okuwangula omudaali mu mizannyo gya Commonwealth.
“Ekigenderwa kyange kwe kutereeza ensombi zen akolera mu mizannyo gya Olympics egyali mu Japan. Ngenda kulwana nnyo okulaba nga nneekumira ku mutindo ogwetaagisa nga sinnakiika mu mpaka ezamaanyi ez’emirundi ebiri omwaka ogujja,” Nanyondo bwe yategeezeza.
Emisinde gyensi yonna egya World Athletics Championships gyakubeera mu Oregon ekya America okuva nga ennaku z’omwezi 15 omwezi ogwa July okutuuka nga ennaku z’omwezi 24 omwezi gwa July omwaka ogujja 2022.
Emizannyo gya Commonwealth gyetabwamu amawanga agaaliko amatwale ga Bungereza nga egy’omwaka ogujja 2022 gya kubeera mu Birmingham ekya Bungereza nga gisuubirwa okwetabwamu abazannyi 5,054.