Vision Group yeeriisizza nkuuli mu mippiira gy'amakampuni

KKAMPUNI ya Vision etwaala n'emikutu gya Bukedde okuli;Olupapula,Ttiivi ne Leediyo,eyoleseza omutindo omusuffu mu mpaka eziwakannirwa kkampuni ezenjawulo mu ggwanga

Aba Vision Group nga battunka mu mpaka z'amakampuni
By Kigongo Moses
Journalists @New Vision
Royal Van Zanten 0 vs Vision Group 0
Mogo Loans 0 -1 Vision Group 1
 Vision Group 1 -0 Nile Breweries Ltd
Hotel Africana 0 -1 Vision Group.
 
KKAMPUNI ya Vision etwala n'emikutu gya Bukedde okuli; Olupapula,Ttiivi ne Leediyo,eyolesezza omutindo omusuffu mu mpaka eziwakanirwa amakampuni.
 
Vision Group teyakubiddwaamu mupiira gwonna mu mpaka zino ezimanyiddwa nga "Corporate League" ezaayindidde ku kisaawe ky'etendekero lya MUBS e Nakawa eggulo ku Sande.
 
Yawangudde emipiira esatu(3) ku mipiira Ena(4) gye yazannye era nga yatandikidde ku ttiimu ya "Royal Van Zanten" gye yakoze nayo amaliri ga 0-0,olwo n'ezzaako "Mogo Loans" gye yawangulidde ku ggoolo 1-0 eyateebeddwa kapiteeni wayo ,Julius Kafuluma. 
 
Mu mupiira Ogw'okusatu ,yakubye Nile Breweries 1-0 mu gumu ku mipiira egy'abaddemu ebbugumu eritagambika, olw'abazannyi ba ttiimu eyo okuzanyisa sisitiimu y'okuzinduukiriza ng'eno bwe beeezibira mungeri emanyiddwa ennyo nga ey'okuteekayo bbaasi mu kitongole kyayo ekizibizi.
Wabula akakodyo kano Vision Group yakatebuse n'ezannya omupiira gw'okulabagana okutuusa lwe yayabuluzaamu ekisenge kyabwe era mu kwagala okulemesa abateebi baayo okubateeba,omu ku bazibizi baabwe,Tomothy Odokonyero ,ne yeteeba ng'ebula eddaakiika mbale omupiira okukomekerezebwa.
Kapiteeni wa Vision Group Julius Kafuluma ng'attunka mu mpaka z'okusika omuguwa

Kapiteeni wa Vision Group Julius Kafuluma ng'attunka mu mpaka z'okusika omuguwa

 
Mu mupiira ogw'asembyeyo,Vision era yakoze ekintu kye kimu bwe yakubye Hotel Africana ggoolo 1-0 okukakkana ng'emazeeko olunaku nga tekubiddwaamu mupiira gwonna mu mpaka zino ezizannyibwa buli wiiki esembayo buli mwezi.
 
Empaka z'omulundi guno zaabaddemu emizannyo egy'enjawulo okw'abadde omupiira gw'ebigere n'okusika omuguwa(Tug of War),kyokka obutafaananko n'omupiira gw'ebigere,mu guno, Vision Group yawanguddwa Platinum Credit bwe baasise abazannyi baayo abaakulembeddwa Kafuluma okukkakana nga babawangudde.
 
Empaka zino zaakuddamu okuzannyibwa omwezi ogujja(August) era nga zirimu ttiimu ezisoma mu 40 okuli;Centenary Bank,NSSF,BLB,Graphic Systems,DFCU Bank,Coca Cola,SG Security Services, PAU, URA, PEPSI Cola,DHL, n'endala