VISION Group efulumya Bukedde yaggyiddwa ku bwannantameggwa bw'omupiira mu kkampuni eziwa amawulire n’okusanyusa abantu bwe yawanguddwa MAAD McCANN ku fayinolo e Kulambiro.
Yawuttuddwa (3-0) mu mpaka ezaatuumiddwa 'It’s On, Season Ewoome” ezaggye abawagizi ba Premier ekifu ku maaso.
Zaategekeddwa Rinaldi Jamugisa ne Colin Asiimwe aba kkampuni ya Multichoice. Vision, eyatimpudde TBWA (15-1) ne MCU (6-0) ku semi, abasinga baagisuubidde okuzzaayo ekikopo kyokka MAAD n'egitunuza ebikalu.