URA eyagala kusosonkola Bugema abazannyi 4 omulundi gumu

OMUTENDESI wa Bugema mu liigi ya yunivasite Meddie Nyanzi ali ku bunkenke oluvannyuma lwa URA FC mu liigi y’eggwanga ey’oku ntikko (Star Times Uganda Premier League) okwesimba mu bazannyi be 4 beeyagala okutwala mangu ddala.

URA eyagala kusosonkola Bugema abazannyi 4 omulundi gumu
By Gerald Kikulwe
Journalists @New Vision

OMUTENDESI wa Bugema mu liigi ya yunivasite Meddie Nyanzi ali ku bunkenke oluvannyuma lwa URA FC mu liigi y’eggwanga ey’oku ntikko (Star Times Uganda Premier League) okwesimba mu bazannyi be 4 beeyagala okutwala mangu ddala.

Okuva Bugema bwe yawandukira ku ‘quarter’ sizoni ewedde mu Pepsi University Football League ng’ekubwa Uganda Martyrs Nkozi ku mugatte gwa ggoolo (3-2), Nyanzi yasigala awawula bazannyi nga beewerera kikopo kya sizoni eno, wabula ssinga URA emusokoolamu abazannyi 4 ekirooto kino kiba kisigadde mu lusuubo.

URA eyagala ggoolokipa nnamba emu wa Bugema Henry Dasan Amuka, omuzibizi Don Wafula, abawuwuttanyi Isaac Ssenyunja ne Isaac Musiime ba beegatteko okwongera okuggumiza ttiimu yaabwe.

Sam Timbe atendeka URA okwegwanyiza abazannyi bano kiddiridde Bugema okubatunuza ebikalu mu mupiira gw’omukwano ogwabadde ku kisaawe kya yunivasite ogwalese bannyini nga bakukkuluma nti ddiifiri Ssendege yabasalirizza.

Bugema yafunye ggoolo esooka mu ddakiika ye 61 ng’eyita mu Innocent Musuk oluvannyuma lw’okwefuga omupiira eddakiika 90 nga URA egoba bisiikirize, wabula ddiifiri yanoonyerezza URA ggoolo bwe yabafunidde penati ng’eddakiika 90 zaaweddeyo dda ne guggweera mu maliri (1-1).

Nyanzi yeemulugunyizza lwaki ddiifiri yabazannyisizza eddakiika 59 ez’ekitundu ekyokubiri mu kifo kya 45 ate nti ne penati gye yabawadde yabadde ya mankyolo oluvannyuma lw’omuzibizi Aziz Opio okuteeka omupiira ku kifuba ddiifiri ne yeekwasa nti akutte.

“URA yatusaze ensawo naye tugenda kutegekayo ogw’okudding’ana twemale eggoga, wabula eky’okunsokoolamu abazannyi kigenda kunkosaamu wadde ky’ekirooto kyange abaana bange okwesogga liigi ya babinywera,” Nyanzi bwe yategeezezza.

URA eri mu kifo kya 9 mu liigi y’eggwanga ey’oku ntikko n’obubonero 23 mu mipiira 18, eddako kukyalira Soltilo Bright Stars e Mwererwe.