Ku mutendera gw’okulwanira ebifo, eggulo (Mmande September 13, 2021) Uganda yakubye DRC 3-1 (22-25, 25-21, 25-23, 25-19) ne yeesogga ensiike yaayo esemba mu mpaka zino ng’ezannya Rwanda mu lwokaano lw’okufunako ttiimu egenda okumalira mu kifo ekyokutaano n’ekyomukaaga.
Ttiimu y'eggwanga eya Volleyball
Rwanda okuddamu okusisinkana Uganda ku mutendera guno, yawangudde Nigeria 3-0 (25-17, 25-22, 25-17). Ababiri bano (Rwanda ne Uganda) baabadde mu kibinja kye kimu (A) wiiki ewedde era ensiike yaabwe yali ya mbiranyi nnyo Rwanda bwe yagiwangulira ku luzannya oluzembayo 3-2 (25-15, 21-25, 23-25, 25-11, 15-9).
George Aporu kapiteeni wa Uganda ku kkono ng'ayisa omupiira ku Hishana owa Misiri
Leero Lwakubiri (September 14, 2021), Uganda eyagala kwesasuza Rwanda abategesi okusobola okumalira mu kifo ekyokutaano ku mulundi gwayo ogusoose okwetaba mu mpaka zino.
2021 MEN’S AFRICAN VOLLEYBALL CHAMPIONSHIP
Eggulo (Mmande) mu ‘Play offs’
Uganda 3-1 DRC
Rwanda 3-0 Nigeria
Leero (Lwakubiri)
Nigeria – DRC
Rwanda - Uganda