Ttiimu za Uganda ez'omupiira zeetaaga ssaala mu mpaka z'amasomero e Kenya

Tiimu za Uganda ez'omupiira ogwebigere okuli Kitende, Amus ne Bukedea zetaaga ssaala okusobola okuyita mu bibinja mu mpaka z'amassomero ga siniya eza FEASSA ezigenda mu maaso mu Kakamega, Kenya.

Omu ku bazannyi ba Uganda nga battunka e Kenya
By Julius Kafuluma
Journalists @New Vision

Omupiira
Kitende 0-2 Agai SS (KE)
Buddo 0-0 Musingu (KE)
Bukedea 6-1 EPM Mpanda (BUR)
Amus 2-0 Gichukiro (RWA)

Volleyball (Balenzi)
Standard High Zana 0-3 LT St. Luc (BUR)
Namugongo Voc 2-3 Cheptil SS (KE)

(Bawala)
Soweto SS (KE) 3-0 Katikamu SDA 
Kwanthanze SS (KE) 3-0 Amus College
Bukedea Comprehensive 0-3 Mwanhuzi SS (TZ)
St. Mathias Mwitoti (KE) 3-0 Tororo Girls 

Ensero (Balenzi)
Seeta High 70-53 Lumala SS (TZ)
Kibuli SS 48-79 Lukenya Boys (KE)
Amus college 61-55 Dr. Aggrey (KE)

Bawala
Nabisunsa Girls 53-43 Butere Girls (KE)
St. Mary’s Kitende 64-43 Olympic SS (KE)

Tiimu za Uganda ez'omupiira ogwebigere okuli Kitende, Amus ne Bukedea zetaaga ssaala okusobola okuyita mu bibinja mu mpaka z'amassomero ga siniya eza FEASSA ezigenda mu maaso mu Kakamega, Kenya.
Mu kibinja ekisooka Buddo Yafudde maliri aga 0-0 ne Musingu eya Kenya n'erinya ku ntikko yekibinja nobubonero 11.

Amus college yawangudde emizannyo gyayo gyombi n'egenda ku bubonero musanvu nga esigazaayo emipiira ebiri gyeyetaaga okuwangula okusobola okuva mu kibinja.
Amus emipiira gyayo gyesigazza gyamassomero ga Kenya okuli ogwa Musingu gyeyenkanya nayo obubonero mu kifo ekyokuna ne Butere Boys eri mu kyokubiri nobubonero 11.
Mu kibinja ekyokubiri Bukedea yatimpudde EPM Mpanda eya Burundi goolo 6-0 nerinya ku ntikko nobubonero 10 nga yenkana ne Agai SS eya Kenya eyakubye Kitende goolo 2-0 mu mupiira ogwabaddemu obunkenke obwamaanyi okuva mu bawagizi ba Kenya abazze beesomye okuyiwa omupiira guno nga bwebaakola ku gwazanyibwa ku ssande.

Omu ku bazannyi ba Uganda

Omu ku bazannyi ba Uganda


Abakungu ba Vipers beekubidde enduulu eri abategesi okwongera tiimu yaabwe obukuumi nga bazannya tiimu za Kenya kyokk tekyasobose.
Kitende eri mu kifo kyakusatu nobubonero mwenda nga erina okuwangula omupiira gwayo ogusembayo ate esabirire abategesi aba Agai babakube oba okugwa amaliri.
Mu muzannyo gwensero mu Balenzi Seeta High yafunye obuwanguzi bwayo obwasoose bwebaakubye Lumala SS eya Tanzania ensero 70-53 ate Amus college nekuba Dr. Aggrey SS eya Kenya ensero 61-55.
Mu Bawala Nabisunsa Girls yakubye Butere Girls eya Kenya ensero 53-43 ate St. Mary’s Kitende nekuba Olympic eya Kenya ensero 64-43.
Mu volleyball owabalenzi nabawala tiimu za Uganda zonna zaakubiddwa bannakenya