Egyazanyiddwa mu Big League
Calvary 2-1 Kyetume
Police 1-0 Kataka
Ndejje 1-2 NEC
Mbarara City 3-1 Lugazi
Kitara 3-1 Jinja North Utd
Luwero Utd 2-3 Booma
Soroti City 0-3 Northern Gateway
Adjumani T/C 1-1 Kaaro Karungi
Bano baasudde omupiira ogwokubiri ogw’omuddiring’anwa bwe baakubiddwa National Enterprise Corporation FC (2-1) abaakajja mu liigi eno omulundi ogusooka kyokka nga baabalumbye waka e Ndejje ekyayongedde okweraliikiriza omutendesi.
Wiiki ewedde baakubwa Lugazi FC (3-1) ku bugenyi e Kawolo mu bikajjo ate ogwaggulawo sizoni baakola maliri (0-0) ne Jinja North Utd FC nga kati be baddiridde asembye wansi n’akabonero kamu kokka mu mipiira esatu.
Komakech agamba nti abazannyi emisomo gibatwalira obudde obusinga obungi ne batafuna kutendekebwa kumala ate nga y’ensonga lwaki bali ku yunivasite eno wabula agenda kwongeramu obukodyo okulaba nga batandika okufuna obubonero.
Mu mbeera y’emu Patrick Kaddu eyaliko sitta wa Cranes ne KCCA FC afuuse ensonga mu Big League nga buli mupiira ateeba ggoolo ezisukka mu emu, eggulo yateebye bbiri nga Kitara FC ekuba Jinja North Utd (3-1).
Kati awezezza ggoolo 6 mu mipiira esatu, yateeba ssatu nga Kitara ekuba Northern Gateway (4-0), n’akuba bbiri nga Kitara ekola amaliri (2-2) ne Booma FC ate n’eggulo yayongeddeko bbiri yekka.