OMUTENDESI wa ManU, Erik ten Hag ataddewo amateeka kw’agenda okutambulira mu kaweefube w’okuzza ttiimu eno engulu.
Essira asinze ku kulissa ku kuzannya mupiira gwa kulumba ogwasinga okuwa abatendesi Sir Matt Busby ne Sir Alex Ferguson ettutumu n’obuganzi ku Old Trafford.
Mu kutuukiriza kino, abuulidde batabani ekika ky’omupiira gw’abasuubiramu era n’alabula abatagusobole nti baakukwatibwa ku nkoona.
Ku mulundi gwe yasoose okusisinkana abamu ku bazannyi ku Mmande, Ten Hag yababuliridde kaati nti tajja kuguminkirizza muzannyi azza mupiira mabega n’oyo akuba paasi mu mabbali g’ekisaawe. Yagasseeko nti
ayagala mupiira nga gudda mu maaso era ataakikole waakugibwanga ku kisaawe oba okusigala ku katebe.
Bino we bijjidde ng'abamu ku bassita ba ManU okuli; Cristiano Ronaldo ne Bruno Fernandes bazze boogera mu lwatu ku batendesi ababaddewo (Ole Gunnar
Solskjaer ne Ralf Rangnick) nti obukodyo bwe babawa tebulina gye butwala ttiimu okuggyako okugikonya.
Ten Hag, ayagala mupiira gwa sipiidi ate nga teguwa mulabe budde bwerowooza. Ten
Hag n’omumyuka we, Steve McClaren balina essuubi nti mu nnaku ze basigazza
okwetegekera sizoni ejja, bajja kuba beetereezezza.
Bagamba nti bassita abaliwo bwe balemwa, bajja kuleeta abaana okuva mu akademi abasobola okukola kye baagala.
Bamusaayimuto Alejandro Garnacho ne Hannibal Mejbri, be basoose okusanyula Ten Hag mu kutendekebwa okwasoose.
AMATEEKA AMALALA GE YAWADDE
l Tayagala bukuukuulu mu kasenge era anaagezaako okutemaatema mu bazannyi
banne waakugobwa.
l Ttiimu tagenda kugirondera ku bungi bwa midaali omuzannyi gy’alina oba omusaala gw’afuna wabula omutindo gw’alaze mu kutendekebwa gwe gujja okumweyimirira.
l Abazannyi abato baakuweebwa omukisa singa banaakola bulungi okusinga bassiniya.
l Abazannyi abateerwaneko kubeera fiiti ebiseera byabwe bitono ku ttiimu.
BALEESE ERIKSEN
Christian Eriksen akkiriziganyizza ne ManU okugyegattako ku ndagaano ya mwaka 3. Ono yali afiira ku kisaawe emyezi 13 egiyise bwe yali azannyira Denmark mu
mpaka za Euro. Eriksen 30, sizoni ewedde abadde mu Brentford eyamuwa endagaano y'emyezi 6