Shadir Musa akomyewo mu miguwa nga yeewera

OMUGGUNZI w’enguumi Shadir Musa Bwogi ayongeza ggiya wakati mu kwetegekera olulwana lwe olw’okubaawo ku ntandiika y’omwezi ogujja.

Shadir Musa akomyewo mu miguwa nga yeewera
By Fred Kisekka
Journalists @New Vision

OMUGGUNZI w’enguumi Shadir Musa Bwogi ayongeza ggiya wakati mu kwetegekera olulwana lwe olw’okubaawo ku ntandiika y’omwezi ogujja.

Shadir eyaliko kapiteeni wa ttiimu y’eggwanga ey’ebikonde ‘The Bombers’ waakuttunka ne Eric Mukama nga June 10 ku Club Obligato mu lulwana olusuubirwa okubaako ne vvaawo mpiteewo.

Ababiri baakwabikira lawundi 6 mu buzito bwa Super Middle kiro 75.

Shadir eyasangiddwa mu kutendekebwa kaasammeeme ku City Gym mu Kampala agamba akomyewo mu miguwa ku ssomesa ng'enkola ye bw'eri bulijjo.

Shadir Musa

Shadir Musa

Yasembye okulwana omwaka oguwedde bwe yakubye Omupoliisi Ivan Magumba ekikonde ekya tonziriranga mu lawundi emu yokka.

Luno lugenda kuba lulwana lwe lwa 4 mu bikonde ebya pulofeesono nga essatu zaasembye okulwana zonna aziwangudde.

Ku lulwana lwe lumu kutegekeddwaako endala 13 okuli olwa Henry Kasujja ‘Stopper’ attunka n’Omutanzania Salehe Mkalekwa.

Isaac Masembe waakuttunka n’Omutanzania Fred Sayuni mu buzito bwa feather, Saulo Male ‘Bad Intention’ ne Daniel Mpologoma (Cruiser weight) endala nga zitegekeddwa aba 12 Sports rounds boxing promotions.