SC Villa, Vipers SC ne KCCA balwanira bwakyampiyoni bwa liggi y'eggwanga leero

ENJOVU ya SC Villa ye yokka ekyalemedde ku ttabi waggulu wa liigi y’eggwanga ey’oku ntikko ‘Star Times Uganda Premier League’ wabula abawagizi buli omu ali ku bunkenke nga bafuuyirira akanwe ttiimu yaabwe tefaanana Arsenal y’e Bungereza eyamazeeko sizoni nga yeerindigudde emmune y’ekigwo.

Ttiimu ya SC Villa
By Gerald Kikulwe
Journalists @New Vision

Leero mu Star Times Uganda Premier League

SC Villa – URA, Wankulukuku

Vipers SC – Busoga United, Kitende

UPDF – Onduparaka, Bombo

Blacks Power – Express, Lira

Arua Hill – Wakiso Giants, Arua

Maroons – Bul, Luzira

KCCA – Bright Stars FC, Lugogo

ENJOVU ya SC Villa ye yokka ekyalemedde ku ttabi waggulu wa liigi y’eggwanga ey’oku ntikko ‘Star Times Uganda Premier League’ wabula abawagizi buli omu ali ku bunkenke nga bafuuyirira akanwe ttiimu yaabwe tefaanana Arsenal y’e Bungereza eyamazeeko sizoni nga yeerindigudde emmune y’ekigwo.

Leero Lwamukaaga lwe lunaku olusalawo kyampiyoni wa liigi y’eggwanga wakati wa ttiimu ssatu zonna ezikyalina omukisa ogusitukira mu kikopo kya sizoni eno wabula kino kirina kusalwawo okusinziira ku mupiira gwa leero buli ttiimu gw’ebuzaayo ogusalawo.

Ttiimu ya Vipers

Ttiimu ya Vipers

SC Villa y’ekulembedde ku ntikko ya liigi n’obubonero 52 mu mipiira 27, ekyazizza URA FC ku kisaawe e Wankulukuku, ekitaasa SC Villa okweggyako ekikwa kya myaka 19 egiyise nga tefuna ku ssanyu lya kikopo, erina kuwangula URA.

Singa ekola amaliri oba n’ekubwa kitegeeza erina okusabira KCCA FC ne Vipers SC bwe bali ku mbiranyi y’ekikopo kino nabo bakubwe oba bakole amaliri mu nsiike yaabwe efundikira sizoni olwa leero.

SC Villa yasemba okuwangula ekikopo kya liigi y’eggwanga sizoni y’emu Arsenal ya Bungereza gye yasemba okukiwangula mu 2003/2004. Wabula be bakyasinze okuwangula ebikopo ebingi (16) mu byafaayo bya liigi y’eggwanga, kati banoonya kya 17.

Vipers SC abalina ekikopo kya sizoni ewedde, mu kiseera kino bali mu kifo kyakubiri n’obubonero 50 mu mipiira 27, bakyazizza Busoga United FC ku kisaawe kya St. Mary’s e Kitende nga nabo beetaaga wiini mu mbeera yonna ate basabirire SC Villa ekubwe URA FC.

Ttiimu ya KCCA FC

Ttiimu ya KCCA FC

KCCA FC be bali mu kifo ekyokusatu n’obubonero 50 mu mipiira 27, bano Vipers SC ebasinzaako enjawulo ya ggoolo 6 zokka. KCCA FC erina enfissi ya ggoolo 16 ate Vipers SC erina 22.

KCCA FC leero bakyazizza Bright Stars FC ku kisaawe kyabwe ekya MTN Omondi Stadium e Lugogo nga nabo beetaaga wiini nga ya ggoolo eziwerako ate basabirire Vipers SC ne SC Villa zikubwe mu mupiira gwa leero.

Twejjukanye abazannyi abaasemba okuwangulira SC Villa ekikopo

Mu ggoolo; Posnet Onyango, Denis Masinde Onyango, Hannington Kalyesubula.

Mu kisenge; Robert Tumusiime, Andy Mwesigwa, Simeon Masaaba, Phillip Obwiny, Timothy Batabaire, Geofrey Kateregga, Peter Makanga.

Abawuwuttanyi; Morley Byekwaso, Augustine Nsumba, Phillip Ssozi, Emmanurel Balyejjusa, Hakim Magumba, Edgar Watson, Joseph Kabagambe, Steven Nsereko, Nathan Mutenza, Dan Obote.

Abateebi; Alex Isabirye Musongola, munnakenya Bernard Mwalala, Aloysius Lubega, Ismail Kigozi.