Kino kiddiridde ssentebe wa SC Villa Shawn Mubiru okuwandiikira Vipers ebbaluwa ebagazisa okukansa omuzibizi waabwe Kayondo.
Kinajjukirwa nti endagaano ya Kayondo ne Vipers abaakawangula liigi emirundi ena (4) esigazza omwaka gumu okuggwaako.
Kayondo (mu bimyufu) ng'akulukuta n'omupiira
Bino olwagudde mu matu ga Villa ne bassaayo akabega. SC Villa eyagala Kayondo adde mu nnamba ssatu eya Derrick Ndahiro eyagenze mu URA era akatale k’abazannyi tekaabasaze kuba bakansizza omuzibizi wa BUL FC Kenneth Ssemakula ne Ismail Mugulusi okuva mu Busoga United.