Akatambi kaatandise okusaasaana okuva ku Mmande ng’abazannyi okuli; Marcelo, Karim Benzema, Eden Hazard n’abalala nga bali mu kwegeza mu mujoozi guno.
Wabula ekyasinze okukakanga abawagizi kye ky’okuba nti kapiteeni waabwe Sergio Ramos nga tali ku bazannyi boolesa mujoozi guno.
Kino kyavuddeko oluvuuvuumo okweyongera okusaasaana nti omuzannyi ono agenda kwabulira Real.
Mu bazannyi abalala abataalabikidde mu mujoozi guno kuliko; Rafael Varane naye agambibwa okugenda mu ManU. Man City eyagala kuleeta Ramos ayongere amaanyi mu kaweefube waabwe okuwangula Champions League. Real yakoze omujoozi ogufaananira ddala gwe baayambala mu 2002 bwe baawangula Champions League.
Kigambibwa nti omwaka ogujja bagenda kuba bajjukira emyaka 20 bukya bakuba Leverkusen ku fayinolo, Zidane mwe yateebera ggoolo amakula.
Omutendesi wa Real omuggya, Carlo Ancelotti yaweereddwa omulimu okuzza ttiimu engulu esobole okuddamu okuwangula ebikopo. Zidane eyavudde mu ttiimu eno yalese ttiimu eno tewanguddeeyo kikopo kyonna sizoni eno.