Ebya Villa ne Vipers biggweera mu Uganda Cup

EBYA Vipers ne Villa tebinaggwa; akalulu ka Stanbic Uganda Cup kazzeemu okubasisinkanya omulundi ogwokusatu sizoni eno

Akulira Plascon Uganda, Gumte Santosh ng’alaga akalulu ka Villa ng’ekutte Vipers. Akulira Plascon Uganda, Gumte Santosh ng’alaga akalulu ka Villa ng’egudde ku Vipers.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

Quarter za Stanbic Uganda Cup
Police - Kataka e Kavumba
Vipers - Villa e Kitende
Kaaro Karungi - KCCA e Kyamate
Kitara - BUL e Hoima
EBYA Vipers ne Villa tebinaggwa; akalulu ka Stanbic Uganda Cup kazzeemu okubasisinkanya omulundi ogwokusatu sizoni eno.
Kaakwatiddwa ggulo ku kitebe kya kkampuni ya Plascon Uganda abateeka ssente mu mpaka zino nga Vipers y’egenda okukyaza e Kitende wakati wa April 18 ne 22 ku quarter.
ENSIIKE ENO KY’ETEGEEZA
Mu liigi ya babinywera sizoni eno, buli omu yawangulira ewuwe. Villa (1-0) e Wankulukuku ne Vipers (2-1) e Kitende. Guno gwe gugenda okusalawo ani musajja sizoni eno.
Villa eyagala kulemesa Vipers okuwangula ebikopo 2 ‘bwassaalongo’. Vipers y’ekulembedde liigi ya babinywera ng’erina essuubi ly’okugiwangula ate erwanira ne Uganda Cup.
Villa erwana butaviirayo awo; Bakyampiyoni ba liigi y’eggwanga aba Villa baagala kuwangula Vipers basigaze omukisa oguwangulayo ku kikopo sizoni eno.
Vipers ekyaliko obusungu bwa Villa okugikubira e Wankulukuku mu gw’okudding’ana mu liigi. Vipers yabadde tennakubwa mupiira bukya ekakasa John Luyinda ‘Ayala’. ku butendesi obujjuvu.
Patrick Kakande yayase nga bawangula Vipers e Wankulukuku sso nga ne Allan Okello yayaka nnyo nga bakuba Villa e Kitende. Bombi ani agenda okubikka munne?
Vipers nkambwe awaka; Bukya sizoni eno etandika, Vipers ye yokka etennakubirwako mu maka gaayo e Kitende. Villa eyagala kuggyawo likodi eno ng’egimegga mu Uganda Cup