Omuzungu wa Vipers ne Oketch balidde engule za ‘Pilsner Monthly Wards’

OMUTENDESI wa Vipers, Roberto Oliviera n’omuteebi wa BUL FC Simon Peter Oketch balidde engule ya ‘Pilsner Monthly Wards’, oluvannyuma lw’okwolesa omutindo ogw’enjawulo mu StarTimes Uganda Premier League omwezi oguwedde ogwa March. 

Omuzungu wa Vipers ne Oketch balidde engule za ‘Pilsner Monthly Wards’
By Ismail Mulangwa
Journalists @New Vision

Oliviera yamezze Charles Livingsston Mbabazi (Arua Hill) ne Sam Timbe owa URA, olw’okuzannya emipiira 3 ku etaano gy’alina n’awangulako 3, ate Oketch yawangudde Karim Ndugwa (BUL FC) ne Rashid Kawawa owa (Arua Hill) olw’okuteeba ggoolo 3 n’okukolera banne emikisa egivaamu ggoolo omulundi gumu (1). 

“Singa si bazannyi bannage n’abatendesi, sandituuse ku buwanguzi buno kuba ffenna tubadde tukolera wamu okulaba nga tutuuka kubuwanguzi.” Oketch bwe yategezezza. 

Ku ngule baabagatiddeko 1,000,000/= buli omu, nga byabakwasiddwa ku mukolo ogwabadde ku wooteeri ya Kati Kati e Lugogo ku lwokusatu. 

Mu ngeri y’emu Travor Mark Lutwama y’alidde engule y’abawagizi ng’omu ku basinze okutebereza emipiira egya liigi era ono yasitukidde mu kavu wa 500,000/=