Munnayuganda Kyakonye awera kuttira Mugirimaani mu miguwa

WILLY Kyakonye Munnayuganda azannyira ebikonde e Budaaki yeeweze okuggunda Omungereza Ryan Charles ku Lw’omukaaga luno nga June 3, 2023.

Munnayuganda Kyakonye awera kuttira Mugirimaani mu miguwa
By Fred Kisekka
Journalists @New Vision

WILLY Kyakonye Munnayuganda azannyira ebikonde e Budaaki yeeweze okuggunda Omungereza Ryan Charles ku Lw’omukaaga luno nga June 3, 2023.

Kyakonye eyakazibwako erya ‘The Ring Tiger’ agamba ku luno akomyewo na nkuba mpya olw’obukodyo obupya bw'afunye ku batendesi be Abadaaki.

Yeesomye bw'agenda okupakira Omungereza Ryan enguumi ayooye n’obuseera nti era waakumumalirako ennyonta y’emyezi etaano gy'amaze nga tali mu miguwa.

Ababiri baakuttunkira mu buzito bwa Heavy kiro 90 mu lulwana olugenda okubumbugira mu kibuga Den Hag ekya Budaaki.

Kyakonye ye muggunzi akwata ekifo ekisooka mu Budaaki mu bazannyira mu buzito bwa Heavy Weight.

Kyakonye

Kyakonye

Luno lulwana lwe lwa 8 mu bikonde ebya puloesono nga 7 ezisembye zona aziwangudde.

Yazannyirako ttiimu y’eggwanga ‘The Bombers’ wakati wa 2010 ne 2016 gye yawangulira omudaali gw’ekikomo mu mpaka za Africa Boxing Championship eza 2015.

Ye munnayuganda yeka eyali azannyeeko mu mpaka z’ensi yonna eza World Boxing Series (WSB) kye yakola wakati wa 2014 ne 2016.

Ku lulwana lwe lumu Naser Bukenya Munnayuganda omulala waakulya matereke n’Omungereza omulala Navid Iran.