Micho akomezzaawo Allan Okello ne Bevis Mugabi

OMUTENDESI wa Cranes Micho Sredejovic azzizza Allan Okello ne Bevis Mugabi ku ttiimu eyeetegekera okuttunka ne Kenya ne Mali mu gisunsula abalizannya World Cup omwaka ogujja e Qatar.

Allan Okello agucangira mu Paradou eya Algeria yazzeemu okuyitibwa ku y'eggwanga
By Ismail Mulangwa
Journalists @New Vision

FIFA World Cup 2022 Qualifiers (Group E): 

11th November 2021: Uganda Cranes Vs Kenya – St Mary’s Stadium, Kitende 4:00 

14th November 2021: Mali Vs Uganda Cranes – Guinea 

Omupiira guno gwa Lwakuna e Kitende nga Cranes okusigaza emikisa egigenda ku luzannya olusembayo erina kugiwangula gyombi. 

Okello azannyira mu Paradou mu Algeria ne Mugabi azannyira mu Motherwell eya Scotland nga yasemba okuzannyira Cranes mu AFCON wa 2019 eyali e Misiri, Cranes bwe yali ewangulwa Senegal (1-0) ku luzannya lwa ttiimu 16. 

Bano batuuka nkya Lwakubiri beegatte ku bapulo abalala abaayitiddwa okuli; Fahad Bayo, Isaac Muleme ne Timothy Awanyi. 

C2

C2

Mugabi

Mu ngeri y’emu, Micho teyayise kapiteeni wa Cranes, Emmanuel Okwi eyaakegatta ku Kiyovu eya Rwanda. Mustafa Kizza azannyira mu Canada naye yasuuliddwa. 

Micho yategeezezza nti omupiira guno mukulu nnyo kuba Kenya gye bazannya ku Lwokuna eyagala kuzannya gwa kulemesa era enfunda ze basisinkanye mu mipiira egisalawo Kenya ebadde ezannya kifiiriza.

Cranes yaakubiri n’obubonero 8 mu kibinja E ekikulembeddwa Mali ku bubonero 10. Kenya erina 2 ate Rwanda 1 okuva mipiira 4.