Ebyemizannyo

ManU ne Spurs zirwanira muzibizi wa Nice

Ttiimu zombi zirwanira omuzibizi wa Nice eya Bufalansa, Jean-Clair Todibo mu katale ka January zongere okwenyweza.

Jean-Clair Todibo
By: Farouk Lubega, Journalists @New Vision

Olutalo lw’okuggumiza ekisenge lusisinkanyizza ManU ne Spurs ku muzannyi ono.

Ttiimu zombi zirwanira omuzibizi wa Nice eya Bufalansa, Jean-Clair Todibo mu katale ka January zongere okwenyweza.

Omuzannyi ono atundibwa obukadde bwa pawundi 39 era Spurs egamba nti ejja kuzisasula sso nga ne ManU eyagala okugoba abazibizi abatagiyamba nayo ssente ezeewulira.

Omutendesi wa Spurs, Ange Postecoglou ayagala kuleeta bazannyi baggumiza kisenge era nga bawangulwa Aston Villa (2-1) ku wiikendi, eddibu mu kisenge lyeyolese bwe yazannyisizza abazibizi b’oku wingi bokka ekyabaviiriddeko okukubwa.

Mu ngeri y’emu, ManU enoonya musika wa Rapahael Varane ayinza okwabulira ttiimu eno mu katale ka January.

Tags:
Spurs
ManU
Jean-Clair Todibo
Nice
Ange Postecoglou
Rapahael Varane