Tuchel ali wazibu: Abaali bassita ba ttiimu batandise okukuba ebituli mu nkola ye

OMUTENDESI wa Bayern ey'e Girimaani, Thomas Tuchel ayolekedde akaseera akazibu abamu ku baali bassita ba ttiimu eno bwe batandise okukuba ebituli mu nkola ye gy'agulamu abazannyi.

Tuchel ali wazibu: Abaali bassita ba ttiimu batandise okukuba ebituli mu nkola ye
NewVision Reporter
@NewVision
#Bayern Munich #Tuchel

Leero mu Bundesliga:

Bayern - Union Berlin, 4:30

OMUTENDESI wa Bayern ey'e Girimaani, Thomas Tuchel ayolekedde akaseera akazibu abamu ku baali bassita ba ttiimu eno bwe batandise okukuba ebituli mu nkola ye gy'agulamu abazannyi.

Kiddiridde Bayern okwogereza Kieran Trippier ate nga yaakamala okuleeta Eric Dier ku looni.

Lothar Matthaus, eyali ssita wa Bayern yagambye nti, "Eno si Bayern. Tetusobola kuleeta muzannyi abadde ku batebe mu Spurs oba akuliridde.

Twaleka Benjamin Pavard ne Josip Stanisic ne bagenda kyokka ne tutafuna babasikira."
Bayern, eri mu kyakubiri mu liigi nga Leverkusen ekulembedde egisinga obubonero 7.

Leero ekyaza Union Berlin.

Login to begin your journey to our premium content