NG’EBULA olunaku lumu lwokka liigi ya basketball ey’oku ntikko okuggyibwako akawuuwo, Stanbic Bank ebakubye enkata ya bukadde 360 ezigenda okuweebwa FUBA mu bitundutundu okutuusa sizoni ng’ekomekkerezeddwa.
Kiddiridde kkampuni ya Tursker Malt Lager ebadde eteeka ssente mu liigi eno obutazza buggya ndagaano yaabwe ne FUBA (ekibiina ekifuga omuzannyo guno mu ggwanga) olw’ensonga ezitanategeerekeka.
Omukolo gw’okutongoza Stanbic gwakoleddwa ku zimu ku Offiisi za bbanka e Kololo nga gwakulembeddwaamu Kenneth Atugamba akulira eby’empuliziganya n’amawulire, Nasser Sserunjogi pulezidenti w’omuzannyo mu ggwanga n’abalala.
Aba FUBA
Atugamba yategeezezza nti eky’okuteeka ssente mu mizannyo bazze bakikola, be bateeka ssente mu mpaka z’ekikopo ky’omupiira ekya Stanbic Uganda Cup, ttiimu ya Pirates mu Rugby be bagivujjirira, y’ensonga lwaki basazeewo okwegatta ne ku basketball.
Sserunjogi agamba nti embalirira ya liigi ya NBL sizoni eno ya bukadde 611, ekizibu ekikyasinze okubatawaanya, be bavujjirizi era y’ensonga lwaki ne ttiimu z’eggwanga okuli’ Silverbacks ey’abasajja enkulu, Gazelles ey’abakazi n’endala ez’abato zitaataaganyizibwa nnyo okwetaba mu mpaka ez’enjawulo naye ekisanja kino ekipya agenda kulwana okunoonya obuyambi obusoboka.
“Tusker Lite tebaakomyewo, twandibadde tulina abavujjirizi nga ba mirundi ebiri naye tukyalwana okwongerako era ssente zino zaakutuyambako ne ku tiimu za liigi za wansi,” Sserunjogi bwe yategeezezza.
Flavia Oketcho kapiteeni wa Gazelles ne JKL Lady Dolphins yasabye bazannyi banne okwolesa omutindo omulungi n’okukuuma empisa kisobole okusikiriza abavujjirizi abalala okuteeka ssente mu muzannyo.
Liigi y’eggwanga eggyibwako akawuuwo enkya (Ssande) n’ensiike ttaano mu kisaawe ekibikke ekya MTN Arena e Lugogo okuli;
Margic Stomers – Miracle Eaglets
D-Mark Power – Rezlife Saints
Ndejje University – KCCA Panthers
UCU Lady Canons – JKL Lady Dolphins
KIU Titans – City Oilers