Lawundi esooka eya liigi y’eggwanga ey’omuzannyo gw’okuwuga eya Uganda National swimming league yakomekerezeddwa eggulo ku ssomero lya International School of Uganda e Lubowa nga we yaggweeredde nga kkiraabu ya Gators egyefuze.
Abamu Ku Bawuzi Abeetabye Mu Mpaka Zino.
Kino kyadiridde okuwangula emitendera egisinga obungi mu mpaka zino nga egimu ku mitendera gye baawangudde kuliko ogwa balenzi abali waggulu w’emyaka 17 nga gwawanguddwa Steve Magera nga ate Kirabo Namutebi ye yawangudde ogwa bawala.
Omutendera gwa bawala ogwa emyaka 14 gwawanguddwa Tara Kisuzi ate ogw’emyaka 12 gwawanguddwa Hakim Abdou. Abawuzi Abakazi Nga Bavuganya.
Wonna awamu abawuzi 297 be beetabye mu liigi eno nga kkiraabu ezasinze okuleeta abawuzi abangi kuliko Gators eyaleeseeko 60, Dolphins 35, Aquatic academy 28 nga wonna awamu kkiraabu 18 ze zeetabye mu mpaka zino.
Lawundi eddako esuubirwa okubaawo nga April 29 ne 30 ate ekitundu ekyokusatu kiwugibwe nga 23-24 omwezi ogwa September.