Lady Doves FC yeesozze 'semi' za CECAFA e Kenya

LADY Doves FC , ttiimu y’abakazi ezannya omupiira gw’ebigere abaakiikiridde Uganda mu mpaka z’okusunsulamu (CECAFA Zonal qualifiers) e Kenya, beesozze ‘semi’ fayinolo bwe bakubye PVP FC eya Burundi ggoolo 3-0.

Lady Doves FC yeesozze 'semi' za CECAFA e Kenya
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

Bya GERALD KIKULWE

CAF Women Champions League qualifiers

Lady Doves 3-0 PVP FC

Simba Queens 10-0 FAD FC

LADY Doves FC , ttiimu y’abakazi ezannya omupiira gw’ebigere abaakiikiridde Uganda mu mpaka z’okusunsulamu (CECAFA Zonal qualifiers) e Kenya, beesozze ‘semi’ fayinolo bwe bakubye PVP FC eya Burundi ggoolo 3-0.

Ez’okusunsulamu zino zigendereddwaamu okufunako kyampioni w’omupiira gw’abakazi okuva mu mawanga g’obuvanjuba bw’Afrika, aneetaba mu ‘Champions League’ w’abakazi asookedde ddala ku lukalu lw’Afrika (2021 CAF Women Champions League) an’abeera mu kibuga Cairo ekya Misiri.

Uganda okwesogga ‘semi’ kiddiridde okumalira mu kifo kyakubiri n’obubonero 7 mu kibinja A ekikulembeddwa Simba Queens eya Tanzania.

Lady Doves kati yaakuzannya Commercia Bank of Ethiopia FC ku ‘Semi’ ate Simba Queens ezannye Vihiga Queens eya Kenya.

Ttiimu emu yokka okuva mu zooni yaffe ye yeetagibwa okukiika mu Champions League e Misiri.

Omutendesi Fred Musiime mugumu nti bagenda kuwangula ekikopo ky’ezokusunsulamu zino basobole okukiika mu Champion’s League.

“Abazannyi tugenda kwongera okubawagala bongere ku bungi bwa ggoolo kuba ogwa PVP twateebye ntono, twetaaga okwongerako okutangaaza emikisa gyaffe,” Musiime bwe yategeezezza.

Mu gwa PVP, Spencer Nakacwa, Norah Alupo ne Fazilah Ekwaput be baateebedde Lady Doves FC okuva e Masindi