Ebyemizannyo

Verstappen atiisizza aba Red Bull

KKAMPUNI ya Red Bull evuganyiza mu bumotoka bwa Formula One, etandise okusattira oluvannyuma lwa ddereeva waabwe, Maxi Verstappen okulangirira nga bw'atandise okulowooza ku by'okuwummula omuzannyo. 

Verstappen atiisizza aba Red Bull
By: Musasi Bukedde, Journalists @New Vision

KKAMPUNI ya Red Bull evuganyiza mu bumotoka bwa Formula One, etandise okusattira oluvannyuma lwa ddereeva waabwe, Maxi Verstappen okulangirira nga bw'atandise okulowooza ku by'okuwummula omuzannyo. 

Kiddiridde agamu ku mateeka amapya agaaleeteddwa sizoni eno Verstappen g'agamba nti gamutamizza obumotoka. 

Aba Red Bull kati bali mukaweefube waakuteekateeka muvuzi mulala Verstappen atuuke okubavaako nga balina addawo. Endagaano ya Verstappen mu Red Bull eggwaako mu 2028.

Tags:
Maxi Verstappen
Red Bull
Verstappen
Omuzannyo