Ebyemizannyo

Kitende ekomyewo mu mpaka z'amasomero senior

Kyaddaaki essomero lya Kitende likomyewo okwetaba mu mpaka z'amassomero ez'abawanguzi ziyite Elite Championship ezitegekebwa ekibiina ekiddukanya emizannyo gyamassomero ga siniya ekya USSSA.

Abakulembeze ba USSSA nga bakwata obululu
By: Julius Kafuluma, Journalists @New Vision

Abaggulawo ku lwokutaano mu mupiira 
Balenzi 
Buddo SS ne Janan SS, ssaawa 4
Kitende ne Kawempe Muslim, saaawa 4
Bawala  
St. Noa Girls ne St. Catherine, ssaawa 4
Kawempe Muslim ne Panyadoli ssaawa 4
Kyaddaaki essomero lya Kitende likomyewo okwetaba mu mpaka z'amassomero ez'abawanguzi ziyite Elite Championship ezitegekebwa ekibiina ekiddukanya emizannyo gyamassomero ga siniya ekya USSSA.
Kitende eyaakawangula empaka zino emirundi esatu yali yakoma okwetaba mu mpaka zino mu 2022 lweyakitwala era okuva ku olwo babadde tebaddangamu kuzeetabamu okumala ebbanga lya myaka esatu.

Abakungu ba USSSA nga bakulembeddwa Ayub Khalifa mu kukwata obululu

Abakungu ba USSSA nga bakulembeddwa Ayub Khalifa mu kukwata obululu


Kitende lyerimu ku massomero agasengekeddwa mu bibinja mu bululu obwatibwa ku olwaleero ku woofiisi za USSSA mu kampala.
Mu mupiira ogwebigere Kitende essiddwa mu kibinja ekisooka ne Bukedea, Uganda Martyrs Rubaga, Standard High School ne Kawempe Muslim. Mu kibinja ekyokubiri Buddo egenda kwambalagana nabategesi aba Janan, Mentor SS, Kyaddondo SS ne Fort Portal SS.
Kitende yaakuggulawo empaka zomwaka guno nga ettunka ne Kawempe muslim ate Buddo eyambalagane nabategesi aba Janan ku lwokutaano lwa wiiki eno. 
Ebibinja byombi birimu tiimu taano nga tiimu bbiri zezijja okuva mu buli kibinja okwolekera oluzannya oluddirira olwakamalirizo.
Atwala ebyemizannyo kiu ssomero lya Kitende Marion Atwegyeise akakasizza nga bwebakomyewo okwongera ebbugumu nokuvuganya mu mpaka zino. “ tukomyewo namaanyi era tuzze kukima buwanguzi bwokka mu buli muzannyo gwetugenda okwetabamu. 

Akulira ebyemizanyo ku St Mary's Kitende Marion Atwegyeise nga alaga akalulu

Akulira ebyemizanyo ku St Mary's Kitende Marion Atwegyeise nga alaga akalulu


Mu mupiira ogwabawala bannantameggwa bomwaka oguwedde aba St. Noa Girls bassiddwa mu kibinja ekisooka ne Nkoma SS, Bukedea Comprehensive, ne St. Catherine Girls Kazo ate nga bbo aba Kawempe muslim abaakwata ekyokubiri omwaka oguwedde bali ne Uganda Martyrs, Sheema Girls, Standard High Zana ne Panyadoli Girls mu kibinja ekyokubiri.
Okuda kwa kitende kukomezaawo ebbugumu mu kubaka gyebagenda okugasimbagana ne Buddo SS. Abalala abagenda okwetaba mu zokubaka kuliko St. Francis SS Busujju, Fort Portal SS, Namungo Seed School, Namagabi SS nabategesi aba Janan SS nga bano buli omu waakuzannya munne.
 Obululu obulala obukwatiddwa kuliko obwa volleyball, handball, basketball 3x3 ne 5x5 ne rugby nga zonna zabawala nabalenzi.
Khalifa Ayub, ssentebe wakakiiko akebyekikugu mu USSSA ayogedde ku mpaka zomwaka guno nga ezeyongeddemu ebbugumu ate nga nokuvuganya kugenda kubeera kwamaanyi.
Amassomero gatandise okutuuka olunaku olwenkya olwo emizannyo giggyibweko akawuuwo ku 
bisaawe ebyenjawulo. Empaka zomwaka guno zaakutojera okumala ennaku ssatu ku ssomero lya Janan e Bombo.
Tags: