Ebyemizannyo

Katikkiro Mayiga ayozaayozezza Omar Mandela olw'okuwangula obwa Pulezidenti bwa Sports Club Villa

Njozaayoza Owek. Omar Ahmed Mandela okulondebwa nate nga President waffe mu SC Villa.  

Omar Mandela
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision
Njozaayoza Owek. Omar Ahmed Mandela okulondebwa nate nga President waffe mu SC Villa.
Hajj Ahmed Mandela akoleredde nnyo SC Villa ebbanga lyonna, omupiira, ate n'ebyemizannyo mu Uganda okutwaliza awamu.
 
Musajja mukozi nnyo, era tulina bingi eby'okumuyigirako olw'engeri gy'ayiiyaamu, okutambuza emirimu, ate n'olwenkolagana ye n'abantu.
 
Abamu tebakimanyi nti yaweerezaako nga Minisita Omubeezi owa Nkuluze mu gavumenti ya Kabaka.
Tukuyozaayoza era tukwagaliza buwanguzi.
Tags: