Ebyemizannyo

MIKE MUTEBI;Bamunoonya akyabuze

“TUKOZE ekisoboka okulaba nga tuzuula kkooci Mike Mutebi wabula akyatubuze. Tutadde ku mikutu gyaffe egya WhatsApp gyonna nga tusaba abapoliisi na buli amulabyeko okutuwa amawulire naye tewali gavaayo”, Omu ku wa poliisi y’e Kisubi ku lwe Ntebe akola ku nsonga z’okunoonya kkooci Mutebi bwe yategeezezza.

Mike Mutebi
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

“TUKOZE ekisoboka okulaba nga tuzuula kkooci Mike Mutebi wabula akyatubuze. Tutadde ku mikutu gyaffe egya WhatsApp gyonna nga tusaba abapoliisi na buli amulabyeko okutuwa amawulire naye tewali gavaayo”, Omu ku wa poliisi y’e Kisubi ku lwe Ntebe akola ku nsonga z’okunoonya kkooci Mutebi bwe yategeezezza.
Yaagaanyi okumwatuukiriza  amannya nti si ye mwogezi wa poliisi. Yannyonnyodde nti
Leo Lugoloobi, eyali ne kkooci Mutebi ku Kisubi Beach yabatuukiridde mu kiro ekyakeesezza ku Lwomukaaga n’abalopera ensonga eno ne batandikirawo omuyiggo
okutuusa mu matumbi budde nga batambul  ebifo byonna ebiriraanye Kisubi ne babulwa.
Mutebi eyatendekako KCCA emirundi  3 n’okugizannyira ssaako  okutendeka Cranes, Villa ne kiraabu endala, yabuze ku Lwomukaaga, abakadde ba Klezia ya St Kizito ey’oku kyalo ky’e  Kawempe bwe baabadde bagenze ku Kisibu Beach okuwummuza ku bwongo.
BITANDIKA BITYA
Lugoloobi ali ku nsalo ya Kirokole Zooni ng’aliraaniganye ne Mutebi owa Zooni ya Keti Falaawo mu Kawempe, yategeezezza nti mukwano nnyo gwa famire ya Mutebi kuba bakulidde ku kyalo ekyo era buli kimu bakikolera wamu.
“Maama wa Mutebi, Annet Nakayiza tulinga ba luganda era tukolagana nnyo. Nakayiza bwe yali agenda okusenga e Kalagala okumpi ne Kyabakadde yandekera obuvunaanyizibwa ku Mutebi kuba takyabeera na mukyala we nga n’omwana we omu yekka gwalina ali bweru.
MUTO WA MUTEBI AYOGEDDE
Muganda wa Mutebi, Kenneth  Mubiru agamba nti eggulo baasiibye ku muyiggo naye    akyasobeddwa kuba obudde bweyongera kugenda ate talina mawulire gonna gakwata ku mukulu we. “Twalowoozezza nti muganda wange yalinnya mmotoka nkyamu mu  komawo kuba omukolo gwabaddeko abantu bangi kyokka tetulina wa tumulaba.

Tags: