Ebyemizannyo

Hassan Alwi awangudde empaka z'emmotoka ezatolontokedde e Mbale

Hassan Alwi awangudde empaka z'emmotoka ezatolontokedde e Mbale

Emmotoka Ford Fiesta Proto eya Hassan Alwi.
By: Procopios Lumu, Journalists @New Vision

Empaka z'emmotoka  ez'empaka ez'omwetoloolo ogusooka ku kalenda y'eggwanga ey'omuzannyo gwa mmotoka eza MPU Mbale ezaguddewo omwaka ziwanguddwa Hassan Alwi n'addirirwa eyaliko kafulu w"omuzannyo guno Moses Lumala ate ye munnansi wa Ethiopian Stefano Valeri.

Hassan Alwi ne tiimu ye nga basanyukira obuwanguzi

Hassan Alwi ne tiimu ye nga basanyukira obuwanguzi

Alwi okutuuka ku buwanguzi kiddiridde okumegga banne bwe babadde ku mbiranyi omubadde ne nantameggwa w'omwaka oguwedde Ronald Ssebuguzi, Duncan Mubiru Kikakankane ne Musa Ssegabwe.

Empaka  ezakulungudde ennaku ebiri zaabadde  mu bitundu bye Mbale  wamu ne mu District ye Bukedea era nga Alwi yaziwangudde oluvannyuma lw'essaawa 1:12:52 n'addirirwa Moses Lumala nga ono yaddukidde 1:16:11 olwo Stefano Valeri naddukira 1:16:27 songa Oscar Ntambi eyakava mu z'ensi yonna mu ggwanga lya Kenya akutte ekifo kyakuna.

Moses Lumala ne Cedric Buzaabo omusomi we owa maapu.

Moses Lumala ne Cedric Buzaabo omusomi we owa maapu.

Mu kiseera kino Alwi akulembedde ekimeeza n'obubonero  35 n'addirirwa Moses Lumala n’obubonero 27 songa Stefano Valeri alina 23.
Empaka eziddako  zeza Pearl of Africa rally championship ezigenda okubeera e Mbarara mu mwezi ogw'omukaaga.

Tags: