Ebyemizannyo

Bannayuganda beebugira World Cup

World Cup yaakuzannyibwa wakati wa June 11 ne July 19 mu bibuga 16 okwetoloola Canada, Mexico ne America ng'emipiira 104 gye gisuubirwa okuzannyibwa ttiimu 48 ezeetabyemu.

Abawagizi n'abakungu ba Nile Brewaries mu kutongoza akalulu
By: Gerald Kikulwe ne Olivia Nakate, Journalists @New Vision

ABAWAGIZI b’omupiira mu ggwanga basambira nnyuma olw’abavujjirizi ba World Cup y’omwaka guno aba Nile Special okubateerewo omwagaanya okugenda okunyumirwa empaka zino ku bwereere mu America, Canada ne Mexico.

Enteekateeka eno yayanjuddwa ku wiikendi ku kitebe kya Nile Breweries e Luzira, ng’abagizi bonna okwetaba mu kampeyini eno, balina kutakula nnamba ezaateereddwa wansi w’akasaanikira k’eccupa ya Nile eya 500ml ne bakasindika ku matabi ga kampuni eno agali okumpi, okwetoloola Uganda yonna.

Mncwabe Nkanyiso

Mncwabe Nkanyiso

Akalulu k’abawanguzi kaakukwatibwa oluvannyuma lwa wiiki ssatu era abo abanaayitamu baasulirwa ttiketi, awookusula, ebisale ebiyingira okulaba emipiira gya World Cup n’okulambula ebibuga nga Philadelphia ne New York.

Maneja wa Nile Breweries, Mncwabe Nkanyiso yategeezezza nti World Cup egatta ensi yonna, y’ensonga lwaki baagadde bannayuganda nabo okuweebwa omukisa balambuleko, nga bwe banywa, balya beebaka ate nga banyumirwa awatali kukwata mu nsawo zaabwe.

Malinga

Malinga

Kitunzi wa Nile Breweries Eric Malinga, yagasseeko nti kino bakikoze okuddiza bannayuganda n’okukyusa ku bulamu bw’okulabira World Cup ku ttivvi naye beetuukire ddala empaka zino gye zinabeera.

World Cup yaakuzannyibwa wakati wa June 11 ne July 19 mu bibuga 16 okwetoloola Canada, Mexico ne America. Emipiira 104 gye gisuubirwa okuzannyibwa ttiimu 48 ezeetabyemu.

Tags:
Cranes
World Cup
Nile Special