Gen.Katumba Wamala atongozza empaka za Pearl of Africa

MINISITA w’emirimu n’entambula Gen Katumba Wamala atngoza empaka za mmotooka z’empaka eza ‘Pearl of Africa Rally Championship’ ez’omwaka guno.

Gen.Katumba Wamala atongozza empaka za Pearl of Africa
By Fred Kisekka
Journalists @New Vision

MINISITA w’emirimu n’entambula Gen Katumba Wamala atngozza empaka za mmotooka z’empaka eza ‘Pearl of Africa Rally Championship’ ez’omwaka guno.

Gen. Katumba yaabadde omugenyi omukulu ku mukolo guno ogubadde ku Shell Bugoloobi mu Kampala nga yayitiddwa aba FMU ekibiina ekitwaala omuzannyo gwa mmotooka z’empaka mu ggwanga.

Mba 2

Mba 2

Empaka za Pearl of Africa Rally Championship ez’omwaka guno zakubaawo wakati wa May nga 6 ne 8 mu disitulikiti ye Mukono ne Buikwe.

Dipu Ruparelia pulezidenti wa FMU agambye nti ku mulundi bakutegeka empaka zino ku mutindo ogwetagisa. Omukolo gwetabiddwaako abavuzi ba mmotoka z’empaka okuli Rajiv Ruparelia, Arthur Blick, Ronald Ssebuguzi n’abalala