Ebyemizannyo

Fulham eguze Pereira okuva mu Man U

Kiraabu ya Fulham eguze Omubrazil Brazil Andreas Pereira okuva mu Manchester United ku bukadde bwa Paawundi 10 ku ndagaano ya myaka ena (4) ng'azannyira kiraabu eno eyaakadda mu Premier League. 

Pereira
By: Wilson Ssemmanda, Journalists @New Vision

Bya Wilson Ssemmanda

London, United Kingdom

Kiraabu ya Fulham eguze Omubrazil Brazil Andreas Pereira okuva mu Manchester United ku bukadde bwa Paawundi 10 ku ndagaano ya myaka ena (4) ng'azannyira kiraabu eno eyaakadda mu Premier League. 

Fulham esoose kusasula obukadde bwa Paawundi 8 ng'oluvannyuma yaakwongerayo obulala bubiri okusinziira bw'anaaba akoze nga balina n'akawaayiro akamwongerayo omwaka mulamba.

Pereira, 26 yakulira mu ttiimu envubuka eya United ng'ava mu PSV Eindhoven mu 2011.

Azannyidde Man U emipiira 75 n'ateeba ggoolo nnya (4) ng'azannyiddeko ku bwazike mu kiraabu ez'enjawulo omuli: Granada, Valencia, Lazio ne Flamengo.

"Njagala okuyamba Fulham mu ngeri yonna gye nsobola okulaba ng'ekola bulungi, era ndi musanyufu nnyo okwegatta ku kiraabu eno ey'ebyafaayo,'' Pereira bwe yayogedde nga yaakanjulwa ng'omuzannyi omupya.

Tags:
Fulham
Man U
Pereira