Ebyemizannyo

Chelsea egobezza Fulham ssente ku muteebi

Wabula ensonda mu Chelsea zaategeezezza nti Broja akyali mu nteekateeka za Chelsea era si waakutundibwa mu katale ka January.

Broja ng'asanyukira ggoolo.
By: Farouk Lubega, Journalists @New Vision

Chelsea egambye nti si yaakukkiriza ttiimu yonna eneesimba mu muteebi waayo Armando Broja.

Ensonda zaategeezezza nti omuzannyi ono Fulham eyagala kumukansa eyongere amaanyi mu lugoba oluteebi. Okuva Aleksandar Mitrovic ayabulira ttiimu eyo, ggoolo zaakendeera mu Fulham era omutendesi Marco Silva agamba ayagala kufunayo muteebi mulala anajjuza ennamba eyo.

Wabula ensonda mu Chelsea zaategeezezza nti Broja akyali mu nteekateeka za Chelsea era si waakutundibwa mu katale ka January.

Fulham y’emu y’emu ku ttiimu eziteeba ggoolo entono ng’erina 13 sizoni eno. Luton, Sheffield United ne Burnley ze zokka ze basinga okuteeba.

Tags:
Fulham
Chelsea
Premier
Armand Broja
Marco Silva
Aleksandar Mitrovic