Fernandes ayomba lwa bazannyi beemalirira

Kiddiridde ttiimu eno okusiitaana nga battunka ne Newport mu luzannya lwa ttiimu 32 mu FA Cup. ManU yakulembedde omupiira guno ggoolo 2-0 kyokka ne bagiva emabega ne bagigatta.

Fernandes ne Antony nga basanyukira ggoolo.
NewVision Reporter
@NewVision
#Bruno Fernandes #Antony #FA Cup #Newport county #Alejandro Garnacho

KAPITEENI wa ManU, Bruno Fernandes agugumbudde bazannyi banne olw’okwemalirira ne balema okugaba omupiira kwe kyetaagisiza.

Kiddiridde ttiimu eno okusiitaana nga battunka ne Newport mu luzannya lwa ttiimu 32 mu FA Cup. ManU yakulembedde omupiira guno ggoolo 2-0 kyokka ne bagiva emabega ne bagigatta.

Wano ManU we yasiitaanidde okunoonya ggoolo ezibawa obuwanguzi nga Rasmus Hojlund ne Antony be baateebye ggoolo endala ne bawangula 4-2.

Fernandes agambye bazannyi banne nti balina okuzannyira awamu nga ttiimu nga baweereza omupiira eri bannaabwe ttiimu efune ggoolo.

Omuzannyi aba ManU gwe balumiriza obutaba mupiira ye Alejandro Garnacho gwe bagamba nti yalemesezza ttiimu okufuna ggoolo ezandigiyambye.

ManU yaakukyalira Nottingham oba Bristol City ku luzannya oluddako mu mpaka zino.

Login to begin your journey to our premium content