Leero Lwamukaaga (10:00);
Express – URA, Wankulukuku
EXPRESS ne URA FC, ze ttiimu za Uganda ennene ezigenda okusooka okukwatagana mu liigi ya babinywera sizoni eno. Ensiike eno ya leero (Lwamukaaga) e Wankulukuku era nga nkulu eri ttiimu zombi kuba zaasudde mu mipiira egyagguddewo. Express yalemaganye ne UPDF (1-1) ate URA n’ekola 0-0 ne Onduparaka e Nakisunga mu Mukono. Ebirala ebigufuula omunyuvu;
l Mu 2003, ensiike ya Express ne URA e Wankulukuku yalimu amawano. Express yawangula (1-0) eya peneti kyokka nga yasooka kufuna peneti ggoolokipa wa URA, Ibrahim Mugisha n’agikwata. Ddiifiri, Charles Nsereko yawa Express peneti eyookubiri ng’obudde buweddeyo. Mugisha yasooka kugikwata, Nsereko n’alagira bagiddemu n’enywa okukkakkana nga kapiteeni wa URA, Abdu Ssenyondo amulinnye tteke mu kifuba ne beekwata amataayi.
l Sizoni ewedde, mu nsisinkano zombi baalemagana (1-1 ne 0-0) ate bagguddewo na maliri. Kati buli emu enoonya buwanguzi.
l Zombi nnene naye zirabwa nga ezitali ku kikopo. Omupiira guno gwakulaga oba zinaavuganya Vipers ne KCCA ku kikopo.
l Express yaguze abazannyi 17 ate URA 8 nga buli mutendesi alina okulaga bakama be nti be yaguze be batuufu.
l Omuteebi wa URA, George Ssenkaaba yali musaale nnyo nga Express ewangula CECAFA ne liigi. Agenda kutunuza mu baali bakama be omudumu. Mu ngeri y'emu, Express yaguze omuzibizi Farouk Katongole mu URA nga naye alinze kutaayiza Ssenkaaba.
l Sam Timbe, atendeka URA aludde ku mulimu guno ate James Odoch owa Express atwalibwa nga 'muzzukulu' we. Ddala omuzzukulu ayinza okuyigiriza jjajjaawe bwe basusa eggi?
l Express emanyiddwa nga nnannyini Wankulukuku kyokka Villa, eyasenzeeyo sizoni eno, yatandise na buwanguzi bwe yakubye Gadaffi (2-0). Express erina okulwana okuwangula omupiira guno ereme baggya baayo baleme okugikinako.
l URA erina abazannyi ab'obumanyirivu, Derrick Nsibambi, Ssenkaaba, Said Kyeyune, Shafik Kagimu ne Patrick Mbowa ate Express erina baludde mu ttiimu njabayaba nga Issa Lumu, Andrew Kaggwa ne Dan Shabena.
Odoch yagambye nti URA nnene naye bo (Express) bali waka nti enduulu y’abawagizi yaakubawa essanyu ly'obuwanguzi.
Timbe agamba nti ku Onduparaka baalemwa bulemwa kussa mupiira mu katimba naye ensonga eno yagikozeeko