Ebyemizannyo

Empaka z'omupiira gw'amasomero ga senior zigguddwawo

Amyuka omulabirizi wekkanisa ya Uganda Bishop Hannington Mutebi yeyabadde omugenyi omukulu mu kuggulawo empaka z’amassomero ga siniya eza USSSA National Ball Games 1 ku ssomero lya Seroma Christian High School e Mukono.Omulabirizi yasinzidde wano nasaba abazadde okuleka abaana baabwe okwetaba mu mizannyo kyeyagambye nti kibayamba okuwawula obwongo. “ ebyemizannyo ensangi zino kitundu ki biseera byabaana baffe ebyomumaaso, bibawa omwaganya okusamba akaggi buli wamu nolwekyo temubakugira kwetaba mu mizannyo.

Bishop Hannington Mutebi ng'aggulawo emipiira
By: Julius Kafuluma, Journalist @New Vision

Egyazanyiddwa
Omupiira
Seroma CHS 2-2 St. Charles Kasasa

Mu nsero eya 3x3
Seeta A level 2-11 St. Marys Kitende
St. Michael    6- 4 Tororo girls
Mengo SS      21-18 Great Aubrey
Seroma CHS   12-22 Buddo SS
St. Michael      10-1  Kira College Butiki

Mu volleyball
Bukedea 0-2 Stahiza
Seroma   2-0 Trinity catholic
Bukedea  2-0 charity College

Mu nsero eya 5x5
Mbogo mixed 38-12 Viva college
St. Cyprian K. 48-15 Muntuyera H/S
St. Michael.    34-6 Makerere college
Seeta A level. 33-9 Janan 

Amyuka omulabirizi wekkanisa ya Uganda Bishop Hannington Mutebi yeyabadde omugenyi omukulu mu kuggulawo empaka z’amassomero ga siniya eza USSSA National Ball Games 1 ku ssomero lya Seroma Christian High School e Mukono. Omulabirizi yasinzidde wano nasaba abazadde okuleka abaana baabwe okwetaba mu mizannyo kyeyagambye nti kibayamba okuwawula obwongo. “ ebyemizannyo ensangi zino kitundu ki biseera byabaana baffe ebyomumaaso, bibawa omwaganya okusamba akaggi buli wamu nolwekyo temubakugira kwetaba mu mizannyo.

Abasambi nga battunka

Abasambi nga battunka


Abayizi 6,500 okuva mu masomero agasoba mu 200 okwetoloola eggwanga bebeetabye ku mukolo ogwokuggulawo empaka mu butongole.
Omukolo guno gwetabiddwako nabakungu okuva mu ministry yebyenjigiriza nebyemizannyo nga bakulembeddwa kamisoma webyemizannyo  Rev. Canon Duncans Mugumya, abakungu ba USSSS nakulira essomero lya Seroma Amelia Kyambadde abaategese egyomwaka guno.
Abavubuka baavuganyizza mu mizannyo egyenjawulo 11 omuli omupiira ogwabawala, okubaka, ensero, volleyball, tenna, handball, badminton, Hockey, Rugby nemirala.
Mu gwaguddewo mu mupiira abategesi aba Seroma baagudde maliri 2-2 ne St. Charles Lwanga okuva e Kalungu era bano tebaavudde mi kibinja oluvannyuma lwokukunganya obubonero bubiri bwokka mu mipiira esatu.
Mu nsero St. Mary’s Kitende yatandise namaanyi mu nsero eya 3x3 nga yafunye obuwanguzi obuddiringana oluvannyuma lwokukuba Seeta A ne St. Michael Ssonde. Wabula aba beesasuza mu nsero eyabalenzi bwebakakkanye ku Kira College Butiki nebagikuba 10-1 mu nsero eya 3x3 mu balenzi.

Abazannyi nga battunka

Abazannyi nga battunka


Mu ya 5x5 mu bawala Mengo SS yeegaganudde nekuba Great Aubrey eye Tororo 21-18, ate nga bbo abategesi aba Seroma baakiguddeko bwebaakubiddwa Budo SS 22-12.
Mu balenzi Mbogo Mixed, Seeta A ne St. Michael Ssonde baawangidde enzannya zaabwe essatu ezasoose nga tebakubiddwamu nga kati balinze luzannya olwokusirisizaawo.
Mu villeyball bannantameggwa bomwaka oguwedde aba Bukedea Comprehensive baakiguddeko bwebaakubiddwa Standard High Zzana 2-0. Wabula oluvannyuma beesasulozza ku Charity College gyebaakubye 2-0 ekyabakomezaawo mu kibalo.
Emizannyo gyebibinja gikomekkerezebwa leero ate olunaku olwenkya batandike ezokusirisizaawo. Empaka zaakukomekkerezebwa ku lwokuna lwa wiiki eno nomukolo oguggalawo ku Seroma.
Tags: