Ebyemizannyo

Aba ADRA bategese emisinde gy'okuyamba abaana ab'obuwala

Mu kaweefube w’okuduukirira abaana bawala abali mu mbeera embi mu bukiikakkono bwa Uganda, ab’ekitongole kya Advent Development and Relief Agency (ADRA) bategese emisinde mubunabyalo mwe baagalira okusonda ssente 200,000,000/= (Obukadde bibiri) okutuukiriza ekigendererwa kino

Enteekateeka y'emisinde
By: Silvano Kibuuka, Journalist @New Vision

Mu kaweefube w’okuduukirira abaana bawala abali mu mbeera embi mu bukiikakkono bwa Uganda, ab’ekitongole kya Advent Development and Relief Agency (ADRA) bategese emisinde mubunabyalo mwe baagalira okusonda ssente 200,000,000/= (Obukadde bibiri) okutuukiriza ekigendererwa kino..

Emisinde gya ADRA

Emisinde gya ADRA

Essira balitadde ku disitulikiti ya Agago wabula nga batunuulidde n’endala nnyingi okutaasa omwana omuwala.

Emisinde gino gitegekeddwa nga May 10 nga giri mu mitendera, ogwa kiromita 10, 5 ne bbiri egy’abaana.

Gyakusimbula era giggwere ku ssemaduuka ayitibwa Metroplex Mall e Naalya ku luguudo lwa Northern By Pass.

Enteekateeka y'emisinde gya ADRA

Enteekateeka y'emisinde gya ADRA

Gyakwetoloola mu nguudo eziriraanye okutuuka ku Kiwatule Recreation Ground n’okudda ku Metroplex Mall.

Dayirekita w’ekitongole kya ADRA Uganda, John Mwanza ategeezezza nti basazeewo okusoosowaza disitulikiti ya Agago gye basimbye amakanda wabula nga n’endala 10 mu bukiikakkono bwa Uganda zaakuganyulwa.

“Omulamwa tugutadde ku kuza baana abawala mu masomero oluvannyuma naddala olw’okuzaala nga tebanaba kwetuuka ne bawnduka mu masomero. Tugenda era kubawa ebikokooma ebibayamba nga bali mu nsonga,” Mwanza bwe yategeezezza mu kugitongoza e Kireka ku kitebe kya ADRA.

Emisinde gya ADRA

Emisinde gya ADRA

Agambye nti emisinde gyakuddukirwa mu Kampala okusobola okusasaanya obubaka obwetaagisa okuyamba abaana abawala mu ggwanga lyonna era n’akubiriza abazadde okufaayo ennyo ku baana abo.

Agambye nti bayambiddwako ebibiina okuva mu Bulaaya okuli ADRA Sweden, ADRA Canada ne ADRA Switzerland era n’asiima amakkampuni gaakuno okuli ICEA Lion, PAU Insurance, Old Mutual Insurance, Site Travels ne Uganda Women Ministries.

Emijoozi baagitadde dda ku katale ku nsimbi 35,000/= okusinziira kw’akulira ebyekikugu mu ADRA Uganda, Timothy Ahimbisibwe.

Ono ategeezezza nti emisinde temuli kuwangula mudidi gwa nsimbi wabula nti eby’ekikugu omuli okugaba amazzi, obujjanjambi wamu n’obukuumi bitegekeddwa bulungi.

Tags: