Elizabeth Ssempebwa asikidde Ucanda ku kya maneja Wa She Crares

Eyali ssita wa She Cranes Elizabeth Kitimbo Ssempebwa yasikidde maneja wa kiraabu ya NIC, Jocelyn Ucanda ku kifo kya maneja wa ttiimu y'eggwanga ey'okubaka eya She Cranes.

Elizabeth Ssempebwa asikidde Ucanda ku kya maneja Wa She Crares
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
#She Cranes

Bya Olivia Nakate

Eyali ssita wa She Cranes Elizabeth Kitimbo Ssempebwa yasikidde maneja wa kiraabu ya NIC, Jocelyn Ucanda ku kifo kya maneja wa ttiimu y'eggwanga ey'okubaka eya She Cranes.

Bino bikakasiddwa pulezidenti w'ekibiina ekiddukanya omuzannyo gw'okubaka mu ggwanga, Sarah Babirye Kityo.

Ssempebwa y'omu ku bazannyi ba She Cranes abaasooka okukiika mu mpaka z'ensi yonna eza Netball world Cup nga zaali mu Trinidad and Tobago mu mwaka gwa 1979.

Babirye Kityo ategeezezza nti obumanyirivu bwa Ssempebwa mu muzannyo gw'okubaka bye bimu ku bitunuuliddwa nga bamuwa ekifo kino.

"Twagala okusembeza abantu abaali bazannyiddeko She Cranes ku mwanjo. Eky'okuba nga bakuze tekitegeeza kubasuula bbali. Nze ndowooza nti Ssempebwa alina ettoffaali ddene ly'agenda okugatta ku muzannyo gw'okubaka. "Kityo bwe yannyonnyodde.

Endagaano eweereddwa Ssempebwa ya myaka ebiri kyokka ng'esobola okuzzibwa obuggya okusinziira ku mutindo gw'anaaba ayolesezza.