OLUVANNYUMA lwa Shaban Muhammad okusazaamu endagaano ye ne Kitara FC nga waakayita emyezi 5 gyokka, ereeteddewo abadde omuwuwuttanyi wa SC Villa Diego Misi Semugera.
Ono yeegasse ku bazannyi okuli; Christopher Bonney munnaghana, Martin Kizza (El Merriekh Bentui) ne Jackson Ssembatya abadde azannyira mu (NEC FC).
Sizoni ewedde, Kitara yamalira mu kifo kyakuna n’obubobnero 56 wabula ne basitukira mu kikopo kya Stanbic Uganda Cup bwe bamegga SC Villa 2-1 e Njeru ku kisaawe kya FUFA Technical Centre.
Bano bakukikirira eggwanga mu mpaka za CAF Confederations Cup oluvannyuma lw’okusitukira mu kikopo kya Uganda Cup