Cranes tugitwala mu World Cup - FUFA

OBUWUMBI 19 buteereddwa mu ttiimu y’eggwanga, ‘The Cranes’ kigisobozese okutuuka mu World Cup ya 2026 eneebeera mu Amerika, Mexico ne Canada. 

Magogo, Mulinge (wakati) ne kitunzi wa kkampuni ya MTN, Somdev Sen ne Rogers Byamukama.
NewVision Reporter
@NewVision
#Cranes #MTN #Airtel #Serena Kampala Hotel #Sylvia Mulinge #Magogo

OBUWUMBI 19 buteereddwa mu ttiimu y’eggwanga, ‘The Cranes’ kigisobozese okutuuka mu World Cup ya 2026 eneebeera mu Amerika, Mexico ne Canada.

Nga bali ku mukolo ogwabadde ku wooteeri ya Serena mu Kampala gye buvuddeko, FUFA yabadde eyanjula kkampuni y’amasimu eya MTN ng’omuvujjirizi wa Cranes omuggya. Bano baali baasemba okugivujjirira mu 2013 era baddidde Airtel mu bigere ng’edagaano ya MTN ya myaka etaano.

Akulira kkampuni ya MTN, Sylvia Mulinge agamba nti, “MTN eyagala nnyo ebisanyusa Bannayuganda kye tuva twakwataganidde wamu ne FUFA okutuusa Cranes mu kikopo ky’ensi yonna ekya 2026.”

Yayongeddeko nti, “Ssente zino zigenda kuba ziyamba ne ttiimu y’abakazi (Crested Cranes), liigi nga FUFA Drum, Junior League, empaka za Super 8 ne Super Cup wamu n’okutegeka emikolo gy’okugaba engule z’asinze (FUFA Awards)."

Moses Magogo, pulezidenti wa FUFA agamba nti, "Tulina empaka za mirundi 17 ne ttiimu 10 ezeetaaga ssente okuddukanyizibwa era ng’ensimbi ezituweereddwa tugenda kuzikozesa okuzuula abasambi okwetooloola Uganda yonna abanaazannyira ttiimu okugituusa gye twagala.”