Abazannyi abaasambye akaggi ku Cranes

OMUTENDESI wa Cranes, Paul Put yayise abazannyi 27 ku ttiimu eyeetegekera South Sudan mu z'okusunsulamu abalizannya eza Afrika omwaka ogujja. Cranes yaakuzannya South Sudan eka ne ku bugenyi emipiira gye yeetaaga okuwangula okutangaaza emikisa egiyitawo.

Taddeo Lwanga
NewVision Reporter
@NewVision

OMUTENDESI wa Cranes, Paul Put yayise abazannyi 27 ku ttiimu eyeetegekera South Sudan mu z'okusunsulamu abalizannya eza Afrika omwaka ogujja. Cranes yaakuzannya South Sudan eka ne ku bugenyi emipiira gye yeetaaga okuwangula okutangaaza emikisa egiyitawo.
Baakusooka kwambalaganira Namboole nga October 11 oluvannyuma badding’anire e Juba nga October 15. Emipiira gyombi mikulu nnyo eri Cranes kuba inga egiwangula, egenda ku bubonero 10 ne kitangaaza emikisa egidda mu AFCON.
Wabula ttiimu ya |Put erimu ebibuuzo ku bazannyi abamu be yaleese ne be yasudde.
Mu ttiimu eno abazannyi 10 bokka be baayitiddwa mu liigi ya Uganda kyokka nga
bw’ogitunuulira (liigi) yeeyongeddemu okuvuganya okw’amaanyi. Omutindo gwa Denis
 Omedi ne Jude Ssemugabi bombi aba Kitara gukakasa kino. Bombi bateebye mu mipiira gya Cranes gyombi (South Afrika ne Congo Brazzaville).
Ronald Ssekiganda ye muzannyi omulala ali mu liigi kyokka nga ku Cranes azannya bulungi.
ABASAMBYE AKAGGI
Abazannyi abaayitiddwa mu ngeri eyeewuunyisa ye; Garvin Kizito ne Derrick Nsibambi (KCCA) ne Taddeo Lwanga (APR, Rwanda). Bano si bapya ku Cranes kyokka James Begisa, Patrick Kakande, Cromwell Rwothomio, ne Joel Sserunjogi balaze omutindo ogubasingako mu nnamba ze baayitiddwaamu. Garvin, eyava mu SC Villa, ogwa KCCA ne Kitara gwe yasoose okuzannya oluvannyuma lw'ebbanga eriwera era mu ngeri ewuniikiriza gwe gwamuwadde tikit  emutuusa ku Cranes!
Mu nnamba 2, Cranes talinaawo buzibu kuba Kenneth Semakula waali nga ne bw'aba avumbedde Bevis Mugabi agikuba.
Omulala eyandirowoozeddwaako okusinga Kizito ye Begisa kuba mu URA abadde azannya. FUFA ezze etegeeza nga bw'eri mu kuzimba ttiimu era Begesa wadde abadde tatandika ku Cranes, aludde ng'ayitibwa.
Mu ngeri y'emu, Taddeo abadde akola bulungi mu APR eya Rwanda gye yawangulidde ekikopo kya liigi kyokka omutindo gwe guliko akabuuza nga ne liigi eyo tesinga ya Uganda kubaamu kuvuganya. Sserunjogi azannya ennamba ya Lwanga y'omu ku batambulirwako amakkati ga KCCA kyokka teyayitiddwa.
Sserunjogi yayingiramu nga Cranes ewangula Congo Brazzaville (2-0) e Namboole n'akola bulungi era n’emipiira emirala abadde atuula ku katebe. Mu nnamba y'emu, mulimu Ronald Sekiganda (Villa) naye abadde akoledde ku Cranes, Bobos Byaruhanga, Said Mayanja, Aucho ne Travis Mutyaba. Nsibambi baamuyise yaakateeba ggoolo emu KCCA bwe yali ewangula Kitara (2-0). Nsibambi abadde aludde okuzannya ku Cranes kyokka bwe yakomyewo mu KCCA, amangu ddala n’ayitibwa sso nga Patrick Kakande, atambulirwako Villa bamulese bbali. Kakande ye muzannyi w’omwaka era omutindo gwe gweyogerera nga yayitibwako ne ku Cranes eyazannya egy’omukwano e Kuwait.
Sizoni ewedde, Kakande yateeba ggoolo 10. Ng’oggyeeko, Kakande, Cromwell Rwothomio owa NEC abadde agwana okuyitibwa ku Cranes okusinga Nsibambi kuba mu kaseera kano akola bulungi.Y’omu ku beetisse NEC kuba ggoolo azikuba nga ne sizoni ewedde yateeba 9. Omuteebi ono ng’omugasse ku Omedi, Ssemugabi, Rogers Mato, Steven Mukwala ne Shafik Kwikiriza basobola okubaako ky'ayongerako. Cranes eyingira enkambi ku Ssande nga bapulofeesono basuubirwa okuggwaayo ku Lwokubiri, ettunke ne South Sudan e Namboole ku Lwokutaano, esuubirwa okusitula ku Ssande eyolekere Juba gye bagenda okudding'anira ku Lwokubiri. South Afrika nayo ekyaza Congo Brazzaville