Buli muzannyi alwanira nnamba mu ttiimu y'eggwanga - Micho

OMUTENDESI wa Cranes Milutin Sredojevic “Micho” buli lukya asanyukira omutindo gw’abazannyi be abali mu nkambi wabula abakuutidde bwe baba baagala okuzannya emipiira gy’omukwano n’empaka z’okusunsulamu abalyetaba mu World Cup balina okulwanira ennamba. 

Buli muzannyi alwanira nnamba mu ttiimu y'eggwanga - Micho
By Ismail Mulangwa
Journalists @New Vision

MU GISUNSULA EZA WORLD CUP 

Kenya-Uganda, September 2 e Nairobi 

Mu gy’okwegezaamu 

Syria-Uganda e Jordan, August 23, 2021 

Syria-Uganda e Jordan August 26, 2021 

Ethiopia-Uganda e Ethiopia August 29. 

Eggulo mu kutendekebwa okwabadde e Lugogo, abazannyi ba Cranes bonna baaweddeyo era baalumizza Micho omutwe kuba bonna balungi era nga buli nnamba erimu abazannyi basatu oba bana ekintu ekyasanyudde Micho nti wano waagenda okusinzira okulonda ttiimu egenda e Jordan ne Ethiopia mu gy’okwegezaamu. 

Micho agamba nti buli muzannyi akola bukubirire okulaba ng’alwanira ennamba olw’ensonga nti bafiirawo mu kutendekebwa. 

" Bukya nkomawo ku ttiimu y’eggwanga ejjuddemu bitone bito ekintu ekimpa essuubi nti bakwata mangu byembagamba mu kutendekebwa saako ne bappulo nga Emmanuel Okwi ne Iguma Denis abalina kye bongera ku baana bano," Micho bwe yategeezezza.

Abakwasi ba ggoolo: Joel Mutakubwa (Express), Charles Lukwago (KCCA), Simon Tamale (Soltilo Bright Stars), Nafian Alionzi (URA).

Mi2

Mi2

Abazibizi: Murushid Juuko (Express), Enock Walusimbi (Express), Arthur Kiggundu (Express), Denis Iguma (KCCA), Innocent Wafula (Mbarara City), Paul Willa (Vipers SC), Eric Ssenjobe (Police), Azizi Kayondo (Vipers), Halid Lwaliwa (Vipers), Garvin Kizito Mugweri (SC Villa), Kenneth Ssemakula (SC Villa), Hassan Muhamood (Police) 

Abawuwuttanyi: Muzamiru Mutyaba (Express), Ibrahim Orit (Vipers), Milton Karisa (Vipers SC), Bobosi Byaruhanga (Vipers), Shafik Kuchi Kagimu (URA), Nicholas Kasozi (Kyetume), Abubakar Gift Ali (KCCA) 

Abateebi: Martin Kizza (Express), Emmanuel Arnold Okwi (Unattached), Patrick Henry Kaddu (RS Berkene), Jude Ssemugabi (Mbarara City), Richard Basangwa (Vipers), Steven Dese Mukwala (URA FC)