Ebyemizannyo

Bamusaayimuto babanguddwa mu mizannyo

 Abayizi 30 be beetabye mu kuggulawo emisomo gino egigenda okumalira ddala ennaku 10 ku ssomero lya Grand Maria School erisangibwa e Nabbingo.

Omutendesi ng'abangula omwana omuwala mu ttena y'oku mmeeza.
By: Bruno Mugooda, Journalist @New Vision

EYALI kafulu mu kuzannya ttena y’oku mmeeza mu 2006, Cyrus Muwanga atandise kaweefube w’okubangula bamusaayimuto mu mizannyo egy’enjawulo mu kaweefube waabwe okutumbula ttalanta zaabwe.

 Abayizi 30 be beetabye mu kuggulawo emisomo gino egigenda okumalira ddala ennaku 10 ku ssomero lya Grand Maria School erisangibwa e Nabbingo.

Musaayimuto ng'azannya ttena.

Musaayimuto ng'azannya ttena.

Ku luno, abayizi abaali wakati w’emyaka 8 ku 15, baakwenyigira mu kubangulwa mu kuwuga, ttena y’oku mmeeza, badminton ne computer coding.

“Nasobola okumanyibwa mu ggwanga lyonna, oluvannyuma lw’okutumbuka mu ttena y’oku mmeeza era nneebaza nnyo eyali kooci wange Paul Mutambuze gwe ndeese abangule bamusaayimuto kuba mmwesiga nnyo mu by’akola,” Muwanga bw’agamba.

Agasseeko nti, “Asobola okutendeka abamu ku bamusaayimuto ne beekolera erinnya mu muzannyo gwa ttena y’oku mmeeza. Omuzannyo guno gwansobozesa okulinnya ennyonyi ne nkiikirira eggwanga mu Amerika, Thailand ne South Afrika n’amawanga amalala."

Muwanga yawangula omudaali gwa zaabu mu mpaka za yunivasite ezaali ku University of Pretoria mu South Afrika mu 2006.

Abayizi baatendekeddwa abatendesi b’eggwanga mu muzannyo gy’enjawulo omuli Brendah Awori owa badminton, Innocent Munguchi (kuwuga), Mutambuze ne Alvin Katumba (ttena y’oku mmeeza).

Abayizzi baalabiddwaako nga batendekebwa ne ttena w’oku mmeeza ne robot.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Tags:
Cyrus Muwanga
Brendah Awori
Table Tennis
Nabbingo
University of Pretoria