Babasabudde Ggoolo 9 ne beekwasa enkuba

BABAKOMEREDDE  goolo 9-0 ne bekwaasa enkuba eyakedde okufudemba mu Kampala.

Amakampuni nga gattunka mu mpaka z'omupiira
By Moses Kigongo
Journalists @New Vision

BABAKOMEREDDE  goolo 9-0 ne bekwaasa enkuba eyakedde okufudemba mu Kampala.

Bino byabaddewo mu mpaka  eziwakanirwa ttiimu z'ebitongole ezimanyiddwa nga "Corporate League" ku Sande akawungeezi ku Kisaawe kya Old Kampala ttiimu ya URA bwe yakakkanye ku  Pepsi Cola  neegiwuttula olukunkumuli lwa ggoolo mu gumu ku mipiira egyaazanyiddwa ng'enkuba yakamala okutonnya.

Oluvannyuma lw'okumira ggoolo zino,abazannyi ba ttiimu eno okwabadde Denis Otim,beekwasiza enkuba nti ye yabaviiriddeko okuwuttulwa,olw'okubisiwaza ekisaawe neebalemesa okuzannya omupiira  gw'okulabagana gwe baaabadde bategese okuyitiramu okufuna obuwanguzi.

"Embeera y'ekisaawe y'etuviiriddeko okukubwa ggoolo empitirivu kubanga enkuba eyattonye ekyonoonye ne tulemesa okuzannya omupiira gw'akawoowo gwe twabadde tutegese okufuna obuwanguzi ku URA," bwatyo Otim bwategeezeza ng'alaga ekyabaviiriddeko okukubwa.

Mu mipiira emirala,Vision Group yakoze amaliri ga mirundi 3(okwabadde; KCB Bank,I&M Bank ne SD Darling) wamu n'okukubwaamu omupiira gumu ogwa UETCL(2-1),ate   Centenary, Hotel Africana, ne DTB Bank nezifuna obuwanguzi mu mipiira gyazo ey'olunakku.