1 Joshua Cheptegei
Omwaka guno Cheptegei yayingidde mu byafaayo nga omuddusi akyasinze okuwangulira Uganda emidaali emingi egiri ku ddaala ly'ensi yonna bwe yawangudde omuddaali ogwa zaabu mu mbiro za mmita 10,000 mu misinde gy’ensi yonna egya World Athletics Championships egyabadde mu Oregon ekya Amerika.
Cheptegei era yavuganya ne mu mbiro za mmita 5000 wabula n'afuna obuvune obutaamusobozesa kukola bulungi mu mbiro zino nga yamalirira mu kifo kya mwenda.
Olw'obuvune bwe yafuna bwamuwaliriza obuteetaba mu mizannyo gya Commonwealth nga era teyasobola kwezza midaali gye egya zaabu gye wangula mu 2018 mu mizannyo egyali mu Gold Coast ekya Australia.
Jacob Kiplimo
2 Jacob Kiplimo
Okumala ebbanga ddene Kiplimo abadde tosobola kwetengerera kuva ku Cheptegei olw'ensonga nti Kiplimo abaddenga tava mu kisikirize kya Cheptegei.
Wabula ku mulundi guno okuvaamu kwa Cheptegei mu mizannyo gya Commonwealth kyawa Kiplimo omukisa okwetunda eri ensi n'okukakasa amaanyi ge na kiki ky'ali.
Nga cheptegei bwe yakikola mu 2018, ne Kiplimo naye yeefuze embiro zino bwe yawangulidde Uganda emidaali gya zaabu ebiri mu mbiro empanvu eza mmita 10,000 ne 5000.
Nga tannagenda mu mizannyo gya Commonwealth, Kiplimo yali awanguddulidde Uganda omudaali ogw’ekikomo mu misinde gy'ensi yonna mu mbiro za mmita 10,000.
Omwaka guno era Kiplimo yeetabye mu misinde gy’okutolontoka ebyalo egya North Great Run mu Bungereza nazo n'aziwangula.
Oscar Chelimo N'omudaali Ogw'ekikomo Gwe yawangula Mu Mbiro Za Mmita 5000
3 Oscar Chelimo
Bannayuganda abalala abaawangulidde Uganda emidaali kuliko muto wa Jacob Kiplimo; Oscar Chelimo.
Chelimo nga ono omudaali ogw'ekikomo yaguwangudde mu misinde gy’ensi yonna mu mbiro za mmita 5000, ye Munnayuganda yekka eyaziwanguddemu omudaali.
Omuddusi Victor Kiplangat Nga Anyumya Engeri Gyeyawangulamu Omuddaali
4 Victor Kiplangat
Victor Kiplangat yafuuse Munnayuganda asoose okuwangulira Uganda omudaali ogwa zaabu mu misinde lubuna byalo egya kiromita 42 mu mizannyo gya Commonwealth.
Ku myaka 23, ssawa eno teri Munnayuganda amuwunyamu mu misinde gya kutolontoka byalo nga kiromita 42 nga zino yaziddukira essaawa 2 n'edakiika 10 n'obutikitiki 55.
Olwokuba nga akyali muto, abaagazi b’emisinde balina essuubi nti ono singa aba tavudde ku mulamwa akyasobolera ddala okuwangulira Uganda emidaali egiwera.
Omuddusi Peruth Chemutai
5. Peruth Chemutai
Peruth Chemutai ye kyampiyoni w’ensi yonna mu mizannyo gya Olympics mu mbiro za mmitta 3000 ez'okubuuka obusenge nga bw'ogwa mu mazzi eza Steeplechase.
Omwaka guno emisinde gy’ensi yonna tegyamutambulira bulungi wabula nga yasobola okuvaayo n’omudaali ogw’ekikomo mu mizannyo gya Commonwealth nga yagenda okumalako nga afunye obw'obuvune obwamulemesa okuwangula zaabu.
Omuddusi Zena Chebet N'omudaali Gwe yawangula Mu Africa
6 Racheal Chebet Zena
Chebet ye munnayuganda yekka eyawangulirira Uganda omudaali nga gwali ogwa feeza mu mbiro za mmita 10,000 mu misinde gya Africa egya Africa Athletics Championships egyali e Mauritius .
Mu misinde gino Uganda yakiikirirwa abaddusi 17 nga ku bo 10 baali basajja ate abakazi baali 07.
Wonna awamu, omwaka guno Uganda yatutte abaddusi mu misinde gya mirundi egiri ku ddaala ly'ensi yonna ne Africa nga kugino kuliko; emisinde gya Africa egyali mu Maritius okuva nga ennaku 08-12 June, emisinde gy’ensi yonna egyali mu Oregon ekya Amerika nga 15-24 July, emizannyo gya Commonwealth egyali mu Birmingham ekya Bungereza okuva nga 28 July -08 August, emisinde gy'abali wansi w’emyaka 21 egyali mu Cali ekya Colombia okuva nga 01-06 August kw'ossa n’emizannyo egiba ta amawanga g'Obusiraamu egyali mu Konya ekya Turkey okuva nga 09-18 August.