Abaddusi abasoba mu 500 be bamaze okwewandiise okwetaba mu misinde gya Akii Bua Memorial Championships egy'okubeera mu kisaawe e Namboole ku Lwomukaaga lwa wiiki eno.
Emisinde gya Akii Bua Memorial Championships egy'omwaka guno gya mulundi gwa 21 nga gitegekebwa buli mwaka n'ekigendererwa ekyokujjukira eyali nnakinku mu misinde gy'okubuuka mmita 400, egy'okubuuka obusenge egya mita 400.
John Akii Bua yafa nga June 20 mu mwaka gwa 1997 . We yafiira yali awangulidde Uganda omudaali ogwa zaabu mu mizannyo gya Olympics wa 1972 egyali mu kibuga Munich ekya Girimaani mu mbiro za mmita 400 ez'okubuuka obusenge ekyamufuula Munnayuganda eyasooka okuwangulira Uganda zaabu mu mizannyo gya Olympics.
Ekibiina ekiddukanya omuzannyo gw'emisinde mu ggwanga ekya Uganda Athletics Federation kyalaba nga kisaanidde okujjukira obuwanguzi obwatuukibwa omugenzi Akii Bua si mu misinde gyokka wabula n'eggwanga okutwaliza awamu.
Omwogezi w'ekibiina ekiddukanya omuzannyo gw'emisinde mu ggwangwa ekya Uganda Athletics Federation Abdullah Muhammad ategeezeza nti ekigendererwa ky'emisinde gino si kujjukira Akii Bua yekka wabula okwongera okuwa abaddusi bamusaayimuto essuubi nti nabo basobola okutuuka ku buwanguzi kasita bamalirira.
Omugenzi John Akii Bua ye Munnayuganda eyasooka okuwangulira eggwanga omudaali ogwa zaabu mu mizannyo gya Olympics ng'embiro za mmita 400 ez'okubuuka obusenge yaziddukira sekonda 47 n'obutundu 82.