Mt. St. Mary’s College Namagunga lye ssomero eryetisse empaka za Basketball ez’abawala eza disitulikiti y’e Mukono ez’eomwaka guno sso ng’ate Seroma Christian High School lye lyasitukidde mu ky’abalenzi.
Empaka zino ezaamaze ennaku bbiri okuva ku Lwomukaaga ne Ssande zaayididde ku ssomero lya Vision For Africa High School e Nakifuma mu disitulikiti y’e Mukono ng’ez’abalenzi zeetabiddwamu ttiimu 18 ate ez’abawala ttiimu 6.
Geoffrey Namisi amyuka akulira ekibiina ekigatta olukiiko olufuga eby’emizannyo mu masomero ga ssekendule mu disitulikiti y’e Mukono yategeezezza nti ezimu ku ttiimu ezasunsuddwa okuzannya ku lunaku olwasembyeyo mu ez’abalenzi kuliko; St. Joseph’s S.S Naggalama, Uganda Martyrs S.S Namugongo, Vision For Africa, Seeta High School Mukono, Seeta High School A Level Campus, St. Balukuddembe Kisoga S.S, St. Cyprian High School Kyabakadde, Namilyango College ne Seroma Christian High School.
Aba Seroma n'ekikopo ky'abalenzi nga bajaganya.
Namisi yagambye nti Seroma ne Seeta High School A Level Campus ze zaatuuse ku luzannya oluddirira olw’akamalirizo Seroma n’eyitawo ate mu luzannya olulala St. Balikuddembe Kisoga yattuse ne St. Cyprian High School Kyabakadde olwo St. Balikuddembe n’eyitawo.
Mu z’akamalirizo ez’abalenzi, Seroma yattunse ne Seroma nga guno gwazannyiddwa ng’obudde buwungedde Seroma n’ewangula ku nsero 21 ku 22. Abamu ku bazannyi balaze okunyolwa olw’omuzannyo okuzannyibwa ekiro ne bagamba nti baabadde n’omupiira tebakyagulaba kuba we baabadde bazannyira tewaabaddewo mataala.
Ate mu gy’abawala, Seeta High School Mukono yattunse ne Mt. St. Mary’s College Namagunga nga Namagunga ye yawangudde ku nsero 8 ku 6.
Aba Seroma nga battunka n'aba Uganda Martyrs e Namugongo (mu biddugavu).
Emizannyo nga bwe gyazze giwangulwa; Seeta High A Level 22 Vs 29 St. Cyprian, Namilyango College 21 Vs 24 St. Balikuddembe Kisoga, Vision For Africa 17 Vs 18 Seeta High Mukono, Uganda Martyrs Namugongo 19 Vs 32 Seroma, St. Joseph Naggalama 8 Vs 28 Seroma ne St. Balukuddembe 15 Vs 16 St. Cyprian.
Stephen Kitooke akulira ekibiina ekitwala eby’emizannyo mu masomero ga ssekendule mu disitulikiti y’e Mukono yasiimye abakulu b’amasomero olw’okujjumbira empaka zino kyokka n’alaga okunyolwa olw’ennamba y’amasomero ageetabyemu okukendeera ku bulijjo agaazannyanga n’agamba nti kino kyandiba nga kyavudde ku kirwadde kya COVID 19 ekyakosa eby’enfuna ng’amasomero agamu tegannadda ngulu.