Amawulire

Tekinologiya y’ajja okwanguyiza abakazi okweggya mu bwavu

MU kukuza olunaku lw’abakozi olwaleero tusaanye tujjukire nti ensi kati etambulira ku tekinologiya nga okunoonyereza bwe kwalaze kyokka abakyala bakyasigalidde emabega ate nga beetaagibwa mu nkulaakulana y’eggwanga.

Minisita omubeezi owa tekinologiya, Joyce Nabbosa Ssebuggwaawo ng’asala keeki n’abamu ku bawala abeetabye mu kutendekebwa ebya tekinologiya.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

 Bya Vivien Nakitende

MU kukuza olunaku lw’abakozi olwaleero tusaanye tujjukire nti ensi kati etambulira ku tekinologiya nga okunoonyereza bwe kwalaze kyokka abakyala bakyasigalidde emabega ate nga beetaagibwa mu nkulaakulana y’eggwanga.

Kino kyatanudde minisitule y’ebyatekinologiya (ICT), okuteeka essira mu kutumbula abakyala mu tekinologiya nabo basembera ku mwanjo. Kino baakitandise na baana bawala abakyali abato, bakule nakyo.

Minisitule ya ICT, ng’eyita mu kitongole kyabwe ekya; National Information and Technical Authority- Uganda (NITA-U) nga beegattiddwaako n’ekibiina kya Code Academy, baatandikawo kaweefube w’okutendeka abawala okuva ku myaka 7 okutuuka ku 10 ebya tekinologiya, bakule nga babyagala.

Nga bajjukira olunaku lw’abaana abawala abali mu bya tekinologiya olukuzibwa mu nsi yonna, abawala abasukka mu 100 okuva mu masomero ag’enjawulo okuli; Kampala Parents, Sancta Maria P/S, Kagoma International School, n’abamu okuva e Mbarara, Hillside P/S, abeetabye mu kutendekebwa kwa tekinologiya nabo lwe bakomekkerezeddwa ne baweebwa ebbaluwa zaabwe.

                                               Ssempala

Ssempala

OKUKOZESA TEKINOLOGIYA OKWEGGYA MU BWAVU
Minisita omubeezi owa tekinologiya mu ggwanga, Joyce Nabbosa Ssebuggwaawo, yagambye nti, baasoose na kwagazisa bawala okwettanira tekinologiya, kuba abakazi bakyali wansi nti naye n’abalenzi baakubakwatako.

Agamba nti okusomesa abawala nga bakyali bato kirimu ebirungi bingi okuli;l Kijja kubayamba kuba ng’abakazi, balina bingi bye bayitamu ne bye bakola, emirimu mingi gikolebwa bakyala, bwe bayiga tekinologiya nga bakyali bato, emirimu mingi gijja kubanguyira, ng’agenda bugenzi ku mutimbagano n’afuna bye yeetaaga oba okutundirako by’akoze.

 Abakyala bangi tebalina ssente zaakupangisa gye bakolera mirimu, bangi babeera waka. Singa omukyala oyo ayiga tekinologiya asobola okukolera awaka we ssente nga tavuddeewo, n’asigala ng’eby’awaka abitambuza bulungi.l Era asobola okumanya n’okukola ebintu ebyettunzi mu bintu ebibali okumpi, okugeza; asobola okukozesa tekinologiya n’amanya eky’ettunzi ky’asobola okukola mu kasasiro, olwo bw’amala okukikola ate n’akitundirawo ng’akozesa tekinologiya.

Minisita Ssebuggwaawo ayongerako nti; Tuli mu ntegeka okusimba ebikondo ebitambuza yintanenti mu ggwanga lyonna, zibune buli wamu mu byalo yonna, kasita kinaggwa, tutandike okubangula abawala n’abakyala b’omu byalo nabo bayige tekinologiya.

 Twakwatagana n’ekibiina kya Code Academy, okuwa abayizi emisomo gino ku bwereere naye nga ne mu kyalo tujja kutuukayo.

Abawala abasobye mu 120 batendekeddwa mu bukodyo obw’enjawulo mu bya tekinologiya n’abamu ku bakyala abatwegasseeko bayize bingi bye tusaba bateeke mu nkola bireme kukomaawo.

                                                       

Edward Ssempala, akulira ekibiina kya Code Academy Uganda yategeezezza nti; Abawala tubabangudde mu bintu eby’enjawulo okuli; okusoma ebintu ebifuula tekinologiya kiki kyali, bayize engeri y’okukola emizannyo ku masimu n’ebirala bingi ebikolebwa mu mulembe guno ogwa tekinologiya.

Omwana bw’ayiga asobola okudda awaka n’ayiiya omuzannyo n’agukola n’ayambibwako ne guteekebwa ku mutimbagano nga gusobola okuzannyibwa ku masimu olwo ye n’afuna ssente.

Abawala bayize okulowooza n’okugonjoola ebizibu ebiri mu bitundu byabwe gye babeera, buli kiraasi ebasomesebwa babaako bye bakolamu okusinziira ku bintu ebiri mu bitundu byabwe.

Abamu bapya era babadde banjulwa eri tekinologye, okusomesebwa bwe bayinza okukola ebintu abalala bye banaakozesa ku masimu gaabwe, yintanenti oba kompyuta, omwana n’ayiga engeri y’okukola ekintu ekigonjoola ekizibu ky’ekitundu kye.

OKUTUMBULA TEKINOLOGIYA
Joshua Akandwanaho okuva mu kitongole kya NITA-U agamba nti; Kampeyini eno eya ICT tugiteekamu amaanyi era twagala olunaku luno olw’abawala abali mu tekinologiya lukuzibwe ensi yonna, nga lugendereddwa okutumbula tekinologiya mu bawala.

Twasazeewo okugenda mu masomero okubayigiriza, mu myaka egijja nga baasobola okukola eby’amagezi kuba gye bujja ensi egenda kufugibwa tekinologiya era nga basobola okukolamu emirimu egivaamu ssente

Tags:
Tekinologiya
okwanguyiza
okweggya
bwavu