Bya Ponsiano Nsimbi ne Shamim Nabunya
OLUTALO wakati w’omuyimbi Alien Skin ng’amannya ge amatuufu ye Patrick Mulwana, ne pulomoota w’ebivvulu, Bajjo owa Bajjo Events luggweeredde mu masasi kunyooka, okukkakkana ng’omu ku basajja ba Alien Skin akwatiddwa n’omukuumi wa Bajjo.
Kino kiddiridde akanyoolagano akaabaddewo wakati w’abasajja ba Allien Skin ne Bajjo ku kifo kya Bajjo we booleza mmotoka e Makindye okumpi ne kkooti ku Lwokubiri akawungeezi.
Kigambibwa nti basajja ba Alien Skin baasoose kugumba mu kifo kino nga baagala Bajjo abannyonnyole lwaki avuma mukama waabwe, kyokka Bajjo bwe yalabye bamulemeddeko n’abeesimattulako n’ayingira ofiisi ye esangibwa mu kifo kino.
Kigambibwa nti Bajjo bwe yabalemye okufuna, obusungu ne basalawo okubumalira ku mmotoka ye ekika kya Wish gye yabadde asimbye wabweru. Akatambi akaasaasaanye ku mikutu gya ‘social media’ kalaga nga mmotoka ya Alien agisimbula n’agitomeza eya Bajjo awo mu luggi lwa ddereeva, era kino yakikoze emirundi ebiri.
Bwe yamaze okugitomera n’egooma olwo n’adda emabega gye yasanze emu ku mmotoka za bakasitoma eyabadde eyozebwa nayo n’agitomera. Bwe yabadde agezaako okudduka, omukuumi Vincent Okabo n’akuba omupiira gwa mmotoka ogw’omu maaso amasasi ne gutuula.
Ekyaddiridde kwabadde kusikang’ana bitogi, wakati w’abasajja ba Alien abaabadde baggyeeyo amayinja bakube omukuumi n’aba Bajjo, bakira abalagira omukuumi okwongera okukuba mmotoka ya Alien amasasi.
Wano Bajjo alabibwa mu katambi ng’akutte akacupa ka ‘pepper spray’ akaabaddemu kaamulali gwe yabadde abafuuyira mu maaso okwetaasa.
Mu kavuvung’ano akaatutte eddakiika nga munaana, abapoliisi okwabadde omukazi n’omusajja baatuuse mu kifo kino ne bagezaako okukwata Alien ne banne, wabula ne balemesebwa.
Bano oluvannyuma baakutte omukuumi eyakubye amasasi n’omu ku basajja ba Alien Skin era bakyakuumirwa ku poliisi e Katwe.
Bajjo yaggudde ku Alien Skin omusango gw’okumukuba n’okwonoona mmotoka ye n’eya kasitoma, era eggulo ( Lwakusatu) fayiro yayitiddwa ku kitebe kya poliisi e Katwe.
Aduumira poliisi eno, David Kamugira yayise Bajjo ne Alien era baasibye beewuuba mu ofiisi ez’enjawulo ku poliisi. Baabaggyeeko sitatimenti era ensonda ku poliisi zaategeezezza nti Alien eyabadde omuwotofu ennyo yasabye Bajjo okumusonyiwa.
Alien ye yasoose okutuuka ku poliisi nga yazze n’abawagizi be olwo ne Bajjo n’atuuka n’abamu ku bapulomoota banne okwabadde Joseph Jjemba ng’ono mutabani wa Gerald Kiweewa.
Jjemba, omu ku beetabye mu nteeseganya yategezeezza nti Bajjo ne Alien bombi poliisi yabagguddeko emisango era DPC yabadde amaliridde bombi okubaggalira kyokka Alien Skin ne yeegayirira n’asaba okumuwa omukisa ateeseganye ne Bajjo era n’ategeeza nga bw’atagenda kuddamu kusaalimbira mu kifo kya Bajjo.
Ebyakkaanyiziddwaako kuliko ekya Alien Skin okuddaabiriza mmotoka ya Bajjo n’endala ze yatomedde mu kavuvung’ano.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigyire yakakasizza okukwatibwa kw’ababiri n’ategeeza ng’okunoonyereza bwe kukyagenda mu maaso.